Musasi
Akabondo k’ababaka ba palamenti abali mu kibiina kya NRM kayitiddwa bukubirire okuteesa ku nsonga ez’enjawulo. Bano baakutuula mu maka g’obwapulezidenti Entebbe.
Okusinziira ku abamu ku babaka abataayagadde kwatuukirizibwa mannya, ensisinkano eno egendereddwamu kwogera ku nsonga z’enteekateeka y’ensoma empya giyite kariculaamu ezifuuse nnattabula.
Palamenti gyebuvuddeko yayimiriza kariculaamu wabula minisitule evunanyizibwa ku by’enjigiriza n’eziimuula ensalawo ya palamenti n’eragira amasomero okugenda mu maaso n’enteekateeka eno.
Ababaka baayita minisita w’ebyenjigiriza era muk’omukulembeze w’eggwanga Janet Museveni okugenda mu palamenti enkya annyonnyole lwaki baaziimuula ekiragiro kyabwe.
Kigambibwa era nti ababaka bakwogera ku kiteeso ekyagala okujja obwesige mu minisita w’obutebenkevu bw’eggwanga Generali Elly Tuwmine.
Ono avunanyizibwa okulemesa ababaka okunonyereza ku bifo ebitulugunyizibwamu abantu ab’ebyokwerin,da biyita Safe House.
Wabula ababaka ba NRM abamanyiddwa nga bakiwagi, omuli Barnabas Tinkasimire akiikirira essaza ly’e Buyaga mu Bunyoro, Theodore Ssekikubo akiikirira essaza ly’e Lwemiyaga mu Sembabule, Gafa Mbwatekamwa akiikirira Kasambya mu Mubende, John Baptist Nambeshe akiikirira Manjiya mu Bududa, n’abalaa bbo tebayitiddwa mu nsisinkano eno.