Musasi waffe
Abavubuka abegattira mu kibiina kya Baganda Nkobazambogo nga bakulembeddwamu ssentebe wabwe Ssempebwa Denis olwaleero bakyaliddeko ku mumyuka wa Katikkiro asooka Oweek. Twaha Kigongo Kaawaase.
Bano bayizi ku ssettendekero lya Makerere University Business School [Mubs] era nga babadde bazze okwanjulira Oweek. Kaawaase butya bwe bagenda okutambuzaamu emirimu omwaka guno. Kina jjukirwa nti Kaawaase musomesa ku ssettendekero ono era nga muwagizi nnyo ow’emirimu gy’ekibiina kino.
Mubs y’emu ku matendekero omuyise banna Nkobazambogo era nga bangi bakolera ebitongole ebyenjawulo mu ggwanga.
Kaawaase abadde musanyufu nnyo olw’okumukyalirako era n’abasuubiza okukolaganira awamu obulungi mu byebakola.
Abasabye okukwatira awamu n’ekitongole ky’abavubuka e Mmengo mu nteekateeka zaabwe zonna omuli n’okwekulaakulanya.