Musasi waffe
Omumyuka wa Katikkiro ow’okubiri, Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa asiimiddwa era n’aweebwa engule olw’emirimu gyakoze mukutumbula ekirime ky’emmwanyi mu ggwanga n’okwetooloola ensi yonna.
Engule eno emanyiddwa nga ‘Coffee Lifetime Achievement Award,’ Nsibirwa emuweereddwa bwabadde yeetaabye mu kuggulawo olukiiko olw’e 18 olukwata ku mmwanyi olumanyiddwa nga African Fine Coffees Conference & Exhibition oluyindira ku Sarova Whitesands Beach resort e Mombasa mu Kenya.
Engule eno Nsibirwa emukwasiddwa Dorothy Tembi, akulira ekitongole kya International Trade Center ekituula e Geneva mu Switzerland.
Nsibirwa ye ssentebe era ssenkulu wa Africa Coffee Academy era nga ye pulezidenti w’ekitongole kigatta abalimi b’emmwanyi ekimanyiddwa nga Uganda Coffee Federation.
Akoze emirmu mingi mu kaweefube w’okutumbula emmwanyi era nga akuliddemu ebitongole bingi ebikola ku mmwanyi mu Uganda n’ensi yonna.