Ebitongole ebikuuma ddembe biri ku muyiggo gwa mujaasi w’eggye lya UPDF e Gulu eyasse abantu basatu mu waadi ya Vanguard mu divisoni ya Pece.
Abattiddwa ye Beatrice Ajok 52 ne batabanibe babiri; Owen Norman 20 ne Dan Joachim Binyang 18, omuyizi abadde mu siniya ey’omukaaga ku ssomero lya St. Pope John Paul II SS. Omwana ow’emyaka omunaana Peace Apwoyorwot ye yasimattuse n’ebisago era nga kati apoocera ku ddwaliro lya St. Mary’s Hospital Lacor.
Ssentebe wa divisioni ye Pece, Kelly Komakech yagambye nti anonyezebwa ye Corporal Geoffrey Okello, omutuuze mu kitundu kyekimu.
Abeerabiddeko n’agaabwe, bategeezezza nti Okello yafunye obutakkanya n’abenju y’omugenzi oluvanyuma lw’okubalumiriza okulundira embuzi zaabwe ku ttakalye.
Kigambibwa nti bano obutakkanya bwabwe baali babugonjoolera
ku kakiiko k’ekyalo wabula mbu Okello teyali musanyufu n’ebyasalibwawo.
Omwogezi w’eggye lya UPDF, Brig. Richard Kalemire yategeezezza nti poliisi ng’eri
wamu n’amagye, bali ku kumuyiggo gwa Okello.