URN
Ssaabaminisita wa Uganda Dr Livingstone Ruhakana Rugunda agambye eggwanga lyeteefuteefu okwanganga enzige ezaakakasiddwa nti zaamaze okuyingira mu ggwanga.
Eggulo gavumenti yagambye nti enzige zayingidde Uganda okuva e Kenya nga ziyitira mu disitulikiti ssatu Amudat, Nabilatuk ne Nakapiripirit mu Karamoja.
Rugunda yasabye abantu okukolaganira awamu ne gavumenti okusobola okulwanyisa enzige zino.
Minisita omubeezi avunanyizibwa ku by’obulimi Aggrey Bagiire yategeezezza nti baasindise dda ekibinja ky’abakugu mu disitulikiti zino okwetegereza embeera nakiki ekiyinza okukolwa okusobola okulwanyisa enzige zino.
Bagiire yategeezezza nti baafunye dda eddaggala erigenda okufuuyira enzige zino era nga ne bomba zaamaze dda okuweerezebwa e Karamoja okutandika okwenganga eddimu ly’okulwanisa enzige zino.
Ate ye minisita avunanyizibwa ku bibamba Musa Echweru wamu n’owamagana Biright Rwamirama bali Nairobi e Kenya bagezaako kwewola ennyonyi enakozesebwa mu kufuuyira enzige.
Eggye lya UPDF nalyo lyasindise abasirkale baalyo 2000 bayambeko mu ddimu lino.
Enzige zino tezigoyezza Uganda yokka wabula n’amawanga agali mu buvanjuba bwa Africa nga Kenya, Djibouti, Sudan, Tanzania, Ethiopia, , South Sudan, Eritrea ne Somalia.