Bya Musasi waffe
Minisita avunanyizibwa ku Obuwangwa, embiri, n’obulambuzi Oweek. David Kyewalabye Male asabye amasomero mu Buganda okuwagira emizannyo ginnansangwa olw’emigaso emingi egigirimu.
Bwabadde atongoza akakiiko akagenda okutegeka emizannyo gino ku Bulange Mmengo, Kyewalabye yagambye nti mukuwagira emizannyo gino kigenda nakutumbula olulimi Oluganda.
“Oluganda lulumbiddwa, era muveeyo mukwatagane n’abakoze kariculum empya okulaba ng’ennimi ennansi zisigaza ekifo kyazo kubanga tuzikozesa emirundi mingo nnyo.
Nkubira omulanga amasomero gonna agali mu Bwakabaka gasindike abaana balabe ebintu byaffe bino, basobole okubyettanira n’okongera okubinyewza. Ensi zonna ezigenze mumaaso zitambulidde mu byabuwangwa byazo,” Kyewalabye bweyagambye.
Emizannyo ginnansangwa gyateekebwa ku kalenda y’Obwakabak era nga gibeerawo buli mwaka era nga gizannyibwa abantu b’emitendera gyonna.
“Twebaza ab’ekibiina ky’olulimi Oluganda ol’okuzzaawo emizannyo gino. Omuganda yasobolanga okweganga, okweyiggira eky’okulya, yabanga n’ebbanguliro era yalina nga wasomeseza omwana omuwala n’omulenzi,” Kyewalabye bweyagambye.
Yasiimye nnyo ab’ekibiina ky’olulimi Oluganda olw’okutunula emabega okulaba ebintu ebyali ebirungi n’egezaako okubizzaawo.
Egimu ku mizannyo gino kuliko, enkuyo, ssekitulege gogolo, ekigwo, omweso, okwepena n’emirala.