Minisita w’Obuwangwa, ennono n’obulambuzi Oweek. David Kyewalabye Male olwaleero akedde kulambula omulimu gw’okukulaakulanya ennyanja ya Kabaka wegutuuse.
Oweek. Kyewalabye abadde wamu n’abakulu abatwala wooteeri ya Pope Paul Memorial abeeyama okukwatizaako Obwakabaka okuddaabiriza ennyanja esinga obunene munsi yonna eyasimwa n’emikono ku mulembe gwa Ssekabaka Daniel Mwanga II.
“Kaweefube w’okulongoosa ennyanja eno twamutandika era tulina mikwano gyaffe abagikozesa era abaganyulwa mu nnyanja eno,” Kyewalabye bweyagambye.
Yasiimye nnyo ebitongole eby’enjawulo ebivuddeyo okukwatira ku Obwakabaka okuddabiriza ennyanja eno. Muno yanokoddeyo aba Rotary Club wamu nab’e ggombolola y’e Lubaga abakoze ekinene okulongoosa wamu n’okusimba omuddo ku nnyanja. Kyewalabye yagasseeko nti bagenda okufuba okulaba nga amakubo agayita ku nnyanja agaateekebwawo mu kimpatiira gavaawo.
“Twagala okwebaza Paul Pope abakoze omulimu omunene ne bayita ne’waabwe okulaba nga ekifo kirungi,” Kyewalabye bweyagambye.
Yasambazze n’ebyogerwa nti ennyanja yali etundiddwa. “Bwebatandika okukola omulimu guno waliwo amaloboozi agajja nti ennyanja etundiddwamu ebibanja tekisoboka; ogitunde ogitwale wa,” Kyewalabye bweyambye.