Musasi waffe
Minisita w’Obwakabaka avunanyizibwa ku by’emizannyo, abavubuka, n’okwewumuza, Oweek. Henry Sekabembe Kiberu asisinkanye abavubuka okuva mu bibiina by’abavubuka naddala abakulembeze wamu naabo abateekateeka okwesimbawo mu bifo eby’enjawulo mu bitundu eby’enjawulo.
Ensisinkano eno egendereddwamu okulaba nti obwakabaka bwongera okuteekateeka abavubuka okusobola okufuna abakulembeze mu bifo ebituufu okusobola okwanganga okusomooza eggwanga lyekulimu nga nabo bennyini batuufu.
“Ekiseera kituuse tufune abakulembeze abatajja kuvuma buvumi bantu, abatajja kwogera bwogezi ng’ate byeboogera tebikwatagana nabikolwa byabwe. Twagala okufuna abakulembeze abateekateekeddwa obulungi, mu nnono, mu buyivu, n’okutegeera esonga ssemasonga ettaano Obwakabaka kwe butambuliza ensonga zaabo. Tulowooza nti omuntu ategeera esonga ezo, aba atuuse ku ddaala erikulembera abantu,” Sekabembe bwagambye.
Agambye nti mu kabbinkano k’ebyobufuzi akaliwo, abo abaagala okwesimbawo balina okukubibwamu tooci okulaba nti beebo abasaanidde.