Bya URN
Palamenti ya Uganda eyisizza ennongosereza mu tteeka erifuga
entambula y’e bidduka erimanyiddwa nga Traffic and Road Safety Act 1998
(Amendment) Bill, 2019.
Ennongosereza mutteeka yagenderera kutereeza
ntambula ya bidduka, okukomya obubenje kunguudo, okweyongera kw’ebidduka ku
nguudo wamu n’abazikozesa saako okutuukiriza obweyamo Uganda bweyakola mu
ndagaano z’ensi yonna zeyassaako omukono.
Ku lw’okusatu ababaka bayisizze etteeka lino oluvannyuma lw’okukola ennongosereza mu buyinza bwa minisita w’ebyentambula, okuwandiisa ebidduka wamu ne layisinsi z’okuvuga ebidduka.
Obumu ku buwaayiro obukulu mulimu ennungamya y’abatunda emmottoka, abavuga takisi wamu ne boda boda saako abatundira emmotoka ku mitimbagano.
Etteeka era likifuula kya buwaza eri abo bonna abavuga ebidduka ebitambuza abantu okubeera ba memba b’ekittavvu ekigatta abantu mumulimu ogwo.
Etteeka era likifuula kya buwaza eri abo abakanika emmotoka, abakola sipeeya saako n’abamugula okwewandiisa okufuna layisinsi okukola omulimu guno.