Musasi waffe
Omukungu w’ekitongole ky’amawanga amagatte akola ku nkyukakyuka y’obudde atwala olukalo lwa Africa (The Africa regional Climate change Co-coordinator and Coordinator of Eco System Based Adaptation for Food Security Africa “EBAFOSA”) Richard Munang, olwaleero akyaliddeko Katikkiro Charles Peter Mayiga e Bulange Mmengo. Okusinziira ku Katikkiro, Munang abadde azze okulondoola omukago aba EBAFOSA gwebatta n’Obwakabaka okukulakulanya ekirime kya Muwogo.
“Muwogo wa miganyulo mingi kubanga abantu bafunamu emmere gyebalya, alina akatale ate ffe tumusogolamu n’omwenge gwa Ngule. Ekyo nno kye kimuleese okulaba engeri omukago gwaffe bwe gutambula Musanyufu kubanga ebibala batandise okubiraba,”Mayiga bwagambye.