Bya Musasi Waffe
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi akungubagidde omuzana Kezekia Nabisenke, mukyala w’omulangira omukulu George William Mawanda Chwa e Salama Munyonyo.
Mu bubakabwe obusomeddwa omulangira David Golooba, Ssaabasajja ategeezezza nti Omuzana Nabisenke abadde omu ku bazadde abatono be babadde basigazza nti era okufa kwe kubalekedde eddibu ddene.
“Omugenzi abadde naffe ekiseera kiwanvu mu ssanyu ne munnaku. Tumwebaza olw’omukwano n’omutima omuzadde,” Kabaka bwategeezezza.
Asiimye omulangira David Namugala olw’okulabirira obulungi maama we wamu n’okumujjanjjaba okutuusa ku nkomerero.
Ku lulwe, Katikkiro Charles Peter Mayiga atenderezza Omuzana Nabisenke, olw’okukuuma ekitiibwa kya Buganda oluvanyuma lw’okuseerera kw’Omulangira Mawanda mu 2000.
“Ekitiibwa ky’eggwanga lyonna kyesigamye ku ngeri abantu b’eggwanga eryo gyebakuumyemu ebyafaayo byabwe era ensi etabifaako ekitiibwa kyayo kibeera kya munguuba. Ssekabaka Daudi Chwa yakuba olubiri e Salama mu 1933 era yayagalayo nnyo, nga wamuwummuza. Ssekabaka bweyakisa omukono n’asikirwa Omulangira Edward Mutesa, ate Kiweesa wa Chwa Mawanda, n’asikira omutuba gwa Chwa era n’asigala mu Lubiri e Salama,” Mayiga bwagambye.
Ate ye Omulangira Kassim Nakibinge Kakungulu naye asiimye emirimu enkumu egikoleddwa omuzaana Nabisenke n’eyebaza Katonda olw’ebbanga ly’abamuwadde.
“Twagala okwebaza mukama Katonda olw’obulamu na byonna byawadde omwagalwa waffe ono, omuli abaana, abazzukulu ne ba nnakabirye. Twebaza Katonda ebyo byamusobozesazza okukola omuli okutukuza n’okutulabirira, n’okubanga ddala yalabirira bulungi mukadde waffe Omulangira Mawanda,” Nakibinge bwagmabye. Omuzaana Nabisenke yafa ku bbalaza ya wiiki ku myaka 96.