Bya Musasi waffe
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II aggumizza omugaso gw’amasiro mu Buganda n’ensonga lwaki galina okukuumibwa obutiribiri.
Bwabadde mu Lubiri e Mmengo nga ayanjulirwa Katikkiro wa Masiro g’e Kasubi omuggya David Nkalubo, Omutanda agambye ekikoleddwa olwalero kiteekeddwa okutujjukiza obukulu n’obuvunanyizibwa bwa buli omu mu kukuuma empisa n’ebyobuwangwa bya Buganda.
“Amasiro ga Bassekabaka ag’e Kasubi namalala gonna, gatulaga ekitiibwa kya Buganda, obugunjufu, obuzira n’obumalirivu Bassekabaka bwe balaga nga bazimba era nga balwanirira Obwakabaka. Naffe tulina okukola n’obumalirivu okulaba ng’amasiro gano tugalabirira, tugakuuma era nga tugakulaakulanya,” Kabaka bweyagambye.
Ayongeddeko nti amasiro g’e Kasubi n’amalala bifo bya bulambuzi era ebisobola okuyingiza ensimbi mu ggwanga. Yeebazizza nnyo obuweereza obulungi obwa Katikkiro wa masiro eyawumudde, George Herbert Mulumba naabo bonna baabadde aweereza nabo.
“Twaniriza Katikkiro omuggya era tumusaba okukolagana obulungi nabuli alina obuvananyizibwa mu lubiri luno ate abe nga yeebuuza nnyo ku nsonga ez’enjawulo,” Kabaka bwagambye. Mungeri eyenjawulo, Omutanda era yeebazizza nnyo Omutaka Muyingo, akulira ekika ky’Omusu wamu n’omugenzi John Luswata taata wa Nnabagereka saako omutaka Dan Ssebugwawo, bwagambye nti yabayita mu lubiri e Banda okuteesa kuki kyebalina okukola okulaba ng’amasiro g’e Kasubi gatambula mungeri esaanidde.
Ku lulwe, Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye nti olubiri lw’e Kasubi Nabulagala lwe lubiri olukyaliwo olwazimbibwa mu nnono, obuwangwa ne tekinologiya omunnansi nga gukulemberwamu Katikkiro Mukasa Nsimbe.
“Kasubi aggyayo ekifaananyi eky’obusobozi n’obugunjufu bwa bajjajjaffe mu kiseera abeeru bwebajjira mu nsi eno. Amasiro g’e Kasubi ge gokka mu Buganda agagalamiddemu ba Ssekabaka abasukka mu omu kale kifo kikulu nnyo mu nnono n’obuwagwa bwaffe,” Mayiga bwagambye. Agambye nti Katikkiro omuggya aggyidde mu kiseera ng’omulimu gw’okuzzaawo amasiro gutambula bulungi nga era mu bbanga ttono bagenda kutandika okugasereka.
“Abantubo bonna mu Buganda baagala omulimu guggwe era naffe kyetwagala. Omulimu gw’amasiro gutambulira munnono, ku mitendera, era tugukola na bwegendereza. Abaguliko tubagerera ebiseera nga twagala bongeremu amaanyi. Kino kiyambye nnyo era munda yonna guwedde tuli ku mulyango. Mu bbanga ttono tugenda kutandika okussaako essubi,” Mayiga bwagambye.
David Nkalubo Katikkiro omuggya aweze mu maaso ga Kabaka nti wakukola obutaweera okulaba nga atuukiriza obuvunaanyibwa obumuweereddwa.