Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ayongezzaayo endagaano
ya yinginiya Andrew Kitaka, okumala emyezi mukaaga nga ssenkulu w’ekitongole
ekiddukanya ekibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority. Eyali minisita
wa Kampala Betty Olive Namisango Kamya nga kati yavunaanyizibwa ku ttaka
yeyalonda Kitaka omwaka oguwedde okudda mu bigere bya Jenifer Musisi Ssemakula
eyalekulira.
Kitaka wakugiranga akola nga Ssenkulu okutuusa nga June 18 omwaka guno. Mu
bbaluwa eyasomeddwa Lord Mayor Erias Lukwago eri abakiise ku Lukiiko lwa KCCA,
Museveni yagambye nti singa ssenkulu omujjuvu analondebwa ng’emyezi
omukaaga teginaggwako, Kitaka wakuva ku
bukulu buno. Abakiise bali mukwetegereza mbalirira ya KCCA nga tenaweerebwa eri
palamenti enkya.