Bya URN
Abatuuze b’e Kamwokya
mu Church Zone baguddemu entiisa oluvanyuma lw’omuvubuka manyiddwako erya Juma
lyokka okweggalira mu nyumbaye nagikumako omuliro. Okukola kino, Juma yasoose
kusanga mukaziwe Eseza Kusasira ng’asinda omukwano n’omusajja omulala
ataategerekese linnya. Abatuuze baasoose kulaba mukka nga guva mu nnyumba ya
Juma olwo nebatandika kaweefube w’okugimenya basobole okumudduukirira. Ono
yagiddwayo nga mulamu era n’atwalibwa ku poliisi e Kamwokya wamu ne muganziwe,
okugiyambako mu kunonyereza.
Wabula Kusasira yategeezezza nti baali bayawukana dda ne Juma olw’okumutulugunya
era nafunayo omusajja omulala.