
Musasi waffe
Oluvanyuma lw’okuwummula kwa eyali Katikkiro wa Masiro g’e Kasubi George Herbert Mulumba eyakola omulimu guno okumala ebbanga eggwanvu, Katikkiro Charles Peter Mayiga ayanjuliddwa Katikkiro omuggya. Haji Ashadu Zzizinga Ssempagala Maggatto, Katikkiro w’ekika ky’omusu yeyayanjudde, David Nkalubo nga ono muzzukulu w’omugenzi Mukasa Nsimbe eyasooka okulya obwa Katikkiro ku mulembe gwa Ssekabaka Muteesa I.

Katikkiro Charles Peter Mayiga yagambye nti amasiro g’e Kasubi galina enkizo ku masiro amalala kubanga gagalamiddemu ba Ssekabaka ba Buganda bana nga bwebajja baddiringana mu nnono; Muteesa I, Daniel Mwanga II, Daudi Chwa II, ne Edrwad Muteesa II.
“Ennono y’amasiro nkulu mukunyweza empagi eziwaniridde obwakabaka. Era twagala okukuuma ennono eyo era obwakatikkiro bw’amasiro y’emu ku nnono y’amasiro. Ekifo omukulu ono kyagenda okutwala kikulu nnyo,” Mayiga bweyagambye. Yagasseeko nti oluvanyuma lw’okwajulirwa Katikiro omuggya, naye agenda ku mwanjula ewa Ssabasajja Kabaka ku Lwokusatu nga Gatonnya 15.
David Nkalubo yeeyamye mumaaso ga Katikkiro nti ajja kutambuza bulungi obuvunayizibwa obwamukwasiddwa. “Nkakasa nti sijja kuswaza jjajjange nja kutuukiriza obuvunanyizibwa ye bweyasookamu. Nga naye yenyini ankulembedde, tujja kutambuza bulungi omulimu gw’amasiro ge Kasubi,” Nkalubo bweyategeezezza.









