URN
Omubaka akiikirira Lwemiyaga mu lukiiko lw’eggwanga olukulu, Theodore Ssekikubo enkya yaleero akwatiddwa poliisi lwa kukunga abalunzi wamu n’abasuubuzi b’ente okuggulawo lwampaka akatale k’ente mu kabuga ke Lwemiyaga mu disitulikiti ye Sembabule.
Nga tannakwatibwa, Ssekikubo yamaze akaseera nga yeenyoola n’abakuuma ddembe abatwala eby’okwerinda e Ssembabule nga abavunaana okuteeka karantiini ku kukutambuza ente mu ggombolola ye Lweiyaga ne Ntuusi newankubadde nga zzo temuli bulwadde bwa kalusu. Ssekikubo yakunze abasuubuzi wamu n’abalunzi okuggula akatale lwampaka wabula poliisi n’ebiyingiramu okubalemesa. Ssekikubo agamba nti ekiragiro ekiwera okutambuza ente mu Sembabule kirina kukola mu maggombolola gwokka awali kalusu nga Rugusuulu, ne Mitiima nga gano gali wala nnyo ne Lwemiyaga. Nga baduumirwa Enoch Abaine, Poliisi ekubye amasasi wamu n’omukka ogubalagala okugeezaako okugumbulula abantu ababadde bataamye obugo.
Okukkakkana nga Ssekikubo akwatiddwa. Ayogerera poliisi mu Bbendobendo lya Masaka, Paul Kangave agambye nti Ssekikubo yakwatiddwa lwakugyemera biragiro bya poliisi wamu n’okulemesa poliisi okukola emirimu gyayo omulu n’okumukwata.
Kangave yategeezezza nti karantiini ku kutambuza ente yassibwa ku disitulikiti yonna wabula si ggombolola zimu nazimu. Embeera ekyali ya bunkenke nnyo mu Kabuga ke Lwemiyaga nga poliisi alwanagana n’abatuuze abagezaako okuggala enguudo.