URN
Akakiiko k’ebyokulonda akakulirwa omulamuzi Simon Byabakama enkya ku ssaawa ttaano kaakusisinkana munnakisinde ky’ebyobufuzi ekya People Power era omubaka wa Kyaddondo ey’obuvanjuba Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa ennyo nga Bobi Wine. Ng’ayogerako ne URN, omwogezi w’akakiiko kano Jotham Taremwa yategeezezza nti bakizudde nti waliwo obwetaavu okusisinkana Bobi Wine nga bali wamu ne Poliisi basobole okukkanya ku nkiiko za Bobi Wine ez’okwebuuza ku bantu ku nteekateekaye ey’okwesimbawo okuvuganya ku ntebe y’omukulembeze w’eggwanga mu kulonda kwabonna okunaabaawo omwaka ogujja. Poliisi nga yeesigama ku nsonga ez’enjawulo, ennaku ssatu eziyise eremesezza Bobi Wine okukuba enkungaanaze ng’egamba nti yabadde tagoberedde buwaayiro bonna obuli mu tteeka erifuga enkugaana erya Public Order Management Act. Olukungaana lwe olwasooka yalina okulukuba e Gayaza wabula Poliisi yalusattulula era n’emuggalira wamu nebanne abaawerako mu buduukulu bwayo e Kasangati ne Naggalama. Eggulo Bobi Wine yasazizzamu olukungaana lwe e Gulu wamu ne Lira olw’ensonga ezeekuusa kukulemesebwa Poliisi. Taremwa yagambye olukiiko era lwakwetabwamu abaagala okwesimbawo kubwa pulezidenti abalala basatu okuli Nkwagabwa John Herbert, Mwesigye Fred ne Mwambazi Joseph.