Musasi waffe
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okukwasizaako mukumaliriza omulimu gw’okuzimba ekkanisa eyatandikibwa omugenzi Oweek. Godfrey Kaaya Kavuma eri e Buwaya Busiro. Mu bubakabwe bweyatisse Oweek. Twaha Kigongo Kawaase, omumyuka asooka owa Katikkiro mu kwabya olumbe lw’omugenzi Kaaya Kavuma, Ssaabasajja Kabaka asiimye nnyo emirimu egyakolebwa omugenzi eri ye ng’omuntu ne Buganda ng’ensi.“Ssaabasajja Kabaka akyali mukunyolwa olw’okuvibwaako musajjawe Godfrey Kaaya Kavuma eyali ow’omugaso era eyakola ebirungi ebingi ennyo eri Buganda. Era yasiima n’amuwa omudaali…olw’emirimu emirungi gyeyakola. Ng’eky’okujjukira ekirala eky’olubeerera, Ssaabasajja Kabaka yasiimye nti wankaaki w’ekkanisa, abe omusale okumuteekawo ng’ettoffaali ku kkanisa eno okujjukira musajjawe,” Kawaase bweyategeezezza. Ssaabasajja era yasabye Katonda akunyweza omusika Paul Kaaya Kavuma mu ntebe wamu n’okulamula banne obulungi. Ate ye Katikkiro Charles Peter Mayiga era mu bubaka obwetikiddwa Oweek. Kawaase, yatenderezza ab’enyumba ya Kaaya Kavuma olw’okutambuza obulungi emikolo okuviira dalala mukuziika okutuusa lwe bayabizza olumbe.
“Tubeebaza okukkiriza newayitawo akaseera nemutambuza olumbe lwe nga bwerwanditambudde okutuukira ddala mu woofiisi ya Katikkiro,” Obubaka bwa Mayiga bwebwategeezezza. Katikkiro era yasiiimye Jjajja Kyaddondo, akulira ekika kye Nvuma, Kaaya Kavuma mwava, olw’okulambika bazzukulube obulungi nti omusika w’omusajja aba musajja so si nga bwekiri mu bantu abamu abaagala okusikisa abaana abawala. Ku lulwe, Paul Kaaya Kavuma yatenderezza kitaawe, olw’omukwano omungi gweyalina eri ekkanisa, essomero lye erya Mwiri, Obwakabaka Bwa Buganda wamu ne Ssaabasajja Kabaka.
“Yalina omukwano ogutenkanika eri ab’omunyumba ye, yayagala nnyo bazzukulube wamu ne mukyalawe. Maama bweyajjanga n’atukyalirako e Nairobi waba wakayita akaseera katono nga akuba essimu, okubuuza ali atya, mbu ekiwuubalo kimutta,” Paul Kaaya Kavuma bweyetegeezezza. Yagasseeko nti kitaabwe yabasomesa okukola ennyo, okuwa abantu ekitiibwa wamu n’okuba n’obuntu bulamu. “Kubanga bwatyo naye bweyawangaala. Ebikolwabye n’ebigambobye tebyakonagananga.”Kulwe kkanisa, Omulabirizi w’e Mityana eyawummula Wilson Mutebi yagambye tewali kukonagana wakati w’eby’obuwangwa n’enjigiriza y’e kikulisitaayo.
“Abamu bwebalaba olubugo, n’omuggo, n’akaleku n’akambe akaganda, n’ekibbo, bagamba tuli mu bukafiiri. Njagala okubategeeza nti nedda, sibukafiiri. Tuli Baganda…kubanga n’Abaganda badda nnyo. Tuli mu buwangwa n’ennono era tetunaba kusobyamu yadde,”Mutebi bweyagambye. Omukolo gwetabiddwako abantu eb’enjawulo okuli ne Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda, bakatikkiro abaawummula, Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere, John Baptist Walusimbi, wamu n’omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda Robert Waggwa Nsibirwa.