Olukiiko lw’eggwanga oluto luyite Congress mu ggwanga lya Amerika ekiro ekikeesezza leero lukubye akalulu okujja obwesige mu mukulembeze w’eggwanga eryo Naggagga Donald Trump. Ono avunanibwa okukozesa woofiisi ye okussa akazito ku ggwanga lya Ukraine okunonyereza k’omu kubavuganya okutwala kaadi y’ekibiina kya Democratic Party, okuvuganya ku bwa pulezidenti omwaka ogujja Joe Biden. Trump era avunaanibwa n’okulemesa Congress okunonyereza, bweyagaana okuwaayo obujulizi obwa musabibwa wamu n’okulemesa abakungu mu gavumenti ye okugenda mu Congress okubuuzibwa. Emisango gyonna Trump agyegaana nga alumiriza aba DP nti bagezaako kuwamba buyinzaabwe oluvanyuma lw’okubamegga mu kalulu ka 2016 bweyawangula Hilary Clinton. Ababaka 230 nga bonna ba DP bawagidde ekiteeso ekiggye Trump mu ntebe ate 197 nga kuliko aba DP babiri n’aba Republican Party 195 nebakiwakanya. Kati ekirindiriddwa kwekuweerezebwa mu Lukiiko olw’okuntikko luyite Senate nga luno lwerugenda okusalawo oba Trump aggyibwa ku bwa pulezidenti oba nedda. Wabula okwawukana ku Congress, Senate esingamu Banna Republican nga kino kyekibiina kya pulezidenti mwava. Kisuubirwa nti bano bagenda kumwejjereza era wakusigala mu buyinza. Amerika agenda genda mu kulonda kwabonna mu 2020.