Musasi waffe
Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye nti bannaddiini okusobola okugasa obulungi abantu bebakulembera, balina okutandikawo enteekateeka ezibajja mu bwavu. Bwabadde mu ssaza lya Kabaka e Buddu mu disitulikiti y’e Kyotera, ku mukolo aba Celebrate Hope Ministries ng’ekulirwa omwami n’omukyala Fred Ssekyewa, kwebaajagulizza okuweza emyaka 10 mu buwereza, Mayiga agambye nti newankubadde bannaddiini obuvunanyizibwa bwabwe kulyowa myoyo, balina okuyamba abantu baabwe okwetakkuluzaako nnabe w’obwavu. “Omulimu omukulu ogw’abakulembeze b’eddiini kwe kutulyowa emyoyo era mulimu gw’abannaddiini okukwasisa abagoberezi empisa ennungi nga mulimu n’obuntu bulamu. Teri mukulembeze w’addiini n’omu eyali alabye emyoyo gyaffe. Abakulembeze b’eddiini kyebasiiba balaba gy’emibiri gyaffe n’embeera mwetubeera. Batulaba nga tulumwa enjala, nga tulwadde, ng’abaana batulemye okutwala mu masomero olw’ebbula ly’essente. Batulaba nga tusula bubi, nga tusula n’enkoko, n’embuzi mu mayumba ekintu ekyobulabe. Batulaba nga tufa obwavu,” Mayiga bwategeezezza n’agattako, “Okusomesa abagoberezi ebifa ku Katonda kisaanidde naye ayagala Katonda asaana asooke kwagala abantu. Abakulembeze b’eddiini kisaanidde okukola enteekateeka etuzimba mu myoyo ne mumibiri,” Mayiga bwategeezezza. Ayongeddeko nti awatali kukola tewali kitiibwa kya Buganda ekiyimbibwa buli lunaku kuba ekitiibwa kisibuka mu kukola n’okweyimirizaawo.
Ku lulwe, Omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule asiimye nnyo Omusumba Ssekyewa olw’omulimu ogw’emmanyi gwakoze e Kyotera okujja abantu mu bwavu. “Omulimu gwebakoze muyitirivu ogwa Mmwanyi Terimba n’omulimu gw’okusitula embeera z’abantu nga baliisa omubiri n’omwoyo era twebaza Katikkiro okukkiriza n’ajja,” Mugumbule bwategeezezza. Ku lulwe, Omusumba Ssekyewa yeebazizza nnyo Katikkiro olw’eddimu lyaliko ery’okuzza Buganda ku ntikko. Wabula asabye Katikkiro enjogera eno ekyukemu efuuke ‘Okukuumira Buganda ku Ntikko.’ “Tuli ku ntikko kubanga ebibuga n’obusuubuzi bitudde wano mu Buganda. Twenywereze ku ntikko n’emmwanyi zaffe, twenyereze ku ntikko ne by’obusuubuzi byaffe. Twenywereza ku ntikko ne bbanka zaffe, twenywereze ku ntikko n’amasomero gaffe. Teri n’omu alina kutuzza mabega, era tusabira Obwakabaka,” Ssekyewa bwagambye. Abuulidde abaabadde bamutegedde amatu nti mu myaka 10 gyebaakamala mu mulimu gw’okulima emmwanyi, basobodde okuyamba bantu okufuna ssente ezisoba mu kawumbi akamu n’obukadde lusanvu. Ng’ojjeko okulima emmwanyi, aba Celebrate Hope Ministries, era balina n’ekyuma ekikola kaawa. Omukolo gwetabiddwako abakungu bangi okuva mu gavumenti ya Ssaabasajja wamu n’eyawakati.