Musasi Waffe
Eyaliko ssenkaggale w’ekibiina ky’eby’obufuzi ekya Forum for Democratic Change, Dr Kizza Besigye agugumbudde abalamuzi olw’okweyingiza mu by’obufuzi ebyawulayawula mu bantu, n’agamba kino ky’ongera okuggumiza olutalo lwe baliko olw’okuleetawo ekyukakyuka muggwanga. Nga ayogerako eri Bannakibiina kya FDC abaakungaanidde ku kisaawe e Namboole mu Kampala, ng’ekibiina kyabwe kijaguza okuweza emyaka 15 munsiike y’ebyobufuzi mu ggwanga, Besigye yagambye nti omulamuzi bwalondebwa aba waggwanga lyonna so si oyo aba amulonze. “Tulina okukola ssemateeka omulala alimu byonnna byetwagala okuli n’okufuna essiga eddamuzi erya Uganda so si lya gavumenti eri mu buyinza. Essiga lyaffe eddamuzi mubutuufu liyenjebuse mbadde simanyi nti bweriti bweriyenjebuse naye kati waliwo obujuluzi obuyitirivu obulaga nti liyenjebuse. Essiga eddamuzi teriba lya gavumenti eri mubuyinza wabula lya ggwanga,” Besigye bweyategeezezza abaabadde bamutegedde amatu. “Twalwanyisa gavumenti ya Obote naye bwetwawangula nga 26/01/1986, eyali ssabalamuzi ku mulembe gwa Obote yajja nalayiza Museveni. Teyagamba nti genda oleete abalamuzibo bakulayize. Abalamuzi, balamuzi ba Uganda si b’oyo eyabawa emirimu era ssemateeka kino akirambika bulungi.” Okwogera bino kiddiridde wiiki ewedde kooti ya ssemateeka okulagira Besigye okugenda mukootize oluvanyuma lw’okwerayiza ku bwa ppulezidenti mu 2016 ng’ate kkooti ensukulumu yali yamaze dda okukisalawo nti Museveni akalulu yeyali akawungudde. Ensalawo eno eya balamuzi abataano abakulembeddwamu omulamuzi Kenneth Kakuru, yayogezza abantu bangi ebikankana nga bagamba nti yeeraze lwatu nti kkooti erina oludda lwegwako.