Musasi waffe
Abayizi 915 olwaleero batikiddwa ku Ssetendekero wa Muteesa I Royal University e Masaka Kirumba. Ku bano kubaddeko abawala 503 n’abalenzi 412. Kubano, 15, bafunye amabaluwa ga satifikeeti, 217 dipulooma ate 683 ddiguli mu masomo age’njawulo okuli ebyenjigiriza, embeera z’abantu eby’obusuubuzi n’amalala. Nga ayogerako eri abazadde n’abayizi, omwana w’engoma, Omumbejja Joan Claire Nassolo, abadde omugenyi ow’enjawulo eyasindikiddwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi, asabaye abayizi okukozesa obukugu bwebafunye okukola ebyo emitima gyabwe gyebyagala awatali kufa kiki abantu kyebalowooza.
“Nebaza abayizi, abazadde wamu n’abasomesa abakoze kyonna ekisoboka okulaba nga babattikkira olwaleero. Uganda y’emu ku mawanga agasinga okubaamu abavubuka abatalina mirimu. Abasinga tebalina bukugu bubaweesa mirimu, abalala tebalina ttaka oba ssente okwetandikirawo emirimu ate abalala tebaagala mirimu gimu. Mugende mukozese obukugu bwemufunye okwetandikirawo emirimu,” Nassolo bwategeezezza.
“abasabye okubeera abaamazima nga bakola emirimu gyabwe basobole okwesigibwa. Abakuutidde n’obuteerabira bazadde baabwe ababaweeredde. Abasabye okwekuuma nga balamu kubanga buli kyebaagala okutuukako basobola kukituukako nga balamu. Ku mukolo gwegumu, Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye Ssettendekero wa Muteesa I alina ekifo kyankizo nnyo mu Buganda ne Uganda yonna okutwaliraawamu. “Ekifo kino kiyinza okuba kyekimu ku bifo ebitono ennyo ebikyaliko ejjinja eryasimbibwa Ssekabaka Muteesa II. Ebifo ebirala baabikulakualako,” Bwatyo Mayiga bwategeezezza. Yeeyamye nti nga gavumenti ya Kabaka, bajja kukola kyonna ekisoboka okulaba nga bawagira ssetendekero mu buli kimu. Akulisizza nnyo abo bonna abatikiddwa n’abasaba bakozese obukugu bwebafunye okugasa ensi yaabwe. “Mumaze emyaka 18 nga munoonya okubangulwa n’obukugu, abazadde bammwe babasizeemu olwonno bwemuba mwesunga okulya ebyassava mube beteefuteefu obutalya nsigo. Tubakubiriza okuba abayiiya naye tubalabula; temuyiiya bintu ebyonoona eggwanga lyaffe. Ebyenjigiriza ebitaliimu buntu bulamu tebibaamu kantu,” Mayiga bweyagambye.
Ku lulwe, minisita avunanyizibwa ku by’enjigiriza mu Bwakabaka Oweek. Prosperous Nankindu Kavuma agambye nti Uganda teyinza kugenda mu maaso singa tessa ssira ku byanjigiriza. “Ng’Obwakabaka tujja kugenda mu maaso nga tussa essira mu bye’njigiriza kubanga wano wetugenda okuyita okukulakulanya Buganda ne Uganda,” Nankindu bwategeezezza. Yeebazizza nyo Ssaabasajja Kabaka olw’okusiima n’atandika ssettendekero wa Muteesa I.