Bya Musasi waffe
Robert Kyagulanyi Ssentamu, amanyiddwa ennyo nga Bobi Wine, wandiikidde akakiiko akavunanyizibwa kubyokulonda nga akategeeza nti wakutandika okutalaaga eggwanga mukaweefubewe owokwebuuza ku bantu. Bobi Wine nga ono ye mubaka akiikirira Kyaddondo East mu Lukiiko lw’eggwanga olukulu, yalangirira gyebuvuddeko nti agenda kwesimbawo avuganye ku bwa pulezidenti bwa Uganda mukulonda kwabwonna okugenda okubaawo mu 2021. Mu bbaluwaye eri akulira akakiiko k’ebyokulonda, Omulamuzi Simon Mugyenyi Byabakama, Bobi Wine yategeezezza nti eteeka erifuga okulonda kwa pulezidenti mukawaayiro 3(1) liwa eddembe oyo ayagala okwesimbawo okutaalaga eggwanga nga akunnganya ebirowoozo bya bantu. “Natunudde mu nteekateeka enagobererwa akakiiko k’ebyokulonda nga elaga anti okusunsula abaneesimbawo ku bwa pulezidenti kugenda kubaawo nga Agusito 20 2020, ekitegeeza nti tegikyawera myezi 12,” Kyagulanyi bweyagambye. Yayongeddeko nti era agenda kukozesa omukisa guno okukunganya sente ezinaamuyambako mukunonya obululu. Kkopi y’ebbaluwa eno era yagiwaddeko n’akulira poliisi ya Uganda Martin Okoth Ochola.