Bya Musasi waffe
Enkuba etonnya obutasalako mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo evuddeko okubumbulukuka kw’ettaka e Bududa neritta abantu bataano kukyalo Naposhi mu disitulikiti ye Bududa. Ekitongole ekikola kukudduukirira abagudde kubibamba ekya Uganda Red Cross kyategeezezza nti abantu basatu bakyanonyezebwa n’balala bana baddusiddwa mu ddwaliro e Bududa okufuna obujjanjabi. Buli nkuba lwetonnya, ebitundu bingi ebiriranye olusozi Masaba [Mount Elgon] bifuna okubumbulukuka kw’ettaka okuvaako okufa kwabanantu. Enkuba bikokyo amaze emyezi nga ena ng’etonnya obutasalako evuddeko amataba mubitundu by’eggwanga ebyenjawulo. Nga ne kuntandikwa ya sabbiiti eno, omugga Kiyiira gwawaguza mu disitulikiti ye Pakwach, ekyasannyalaza ennyo ebyentambula naddala mu bitundu bya West Nile. Si Uganda yokka yekoseddwa enkuba eno, wabula n’amawanga agali mu Buvanjuba bwa Africa nga Kenya, Somalia ne Tanzania. E Kenya, abantu abakunukkiriza mu 100 ezaabwe zamazedda okuvuunika. Gavumenti mu ggwanga eryo egezaako kusengula bantu okubazza mubifo ebitannakosebwa nnyo.