Musasi waffe
Omubaka wa Bufalansa mu Uganda Jules Armand, agambye nti eggwanga lye lyeteefuteefu okukolagana ne Buganda okutumbula omutindo gw’abantu ba Ssabasajja. Ng’asisinkanye Katikkiro wa Buganda ku Mbuga e Bulange Mmengo, Armand, Omufalansa omuduggavu nga ava mu ggwanga lya Benin, ategeezezza nti ensisikanoye ne Katikkiro Charles Peter Mayiga, yatambulidde kusonga nyingi omuli, ebyenjigiriza, eby’obulamu, okusuubulagana wakati wa Buganda nebannamakolero ba Bufalansa,
“Njize bingi ebikwata ku byafaayo bya Buganda era Katikkiro ampadde ekitabo kyengenda okusoma okwongera okuyiga ebikwata ku Buganda. Nkakasa nti Uganda y’ensi esinga obulungi munsi yonna. Simanyi oba mmwe Bannayuganda mukimanyi nti ensi yammwe nnungi nnyo, ” Armand bwagambye. Ayongeddeko nti Bannayuganda balina okutandika okussa essira kuby’obulambuzi n’asubiza okukolera awamu okutuukiriza kino. Kululwe, Mayiga agambye nti musanyufu nnyo olw’okukyaza Armand, n’agamba nti Kabaka ayagala bakole emikago n’abantu abava mu mawanga amalala kubanga ensi kati mutala gumu . “Bwetuba twagala okukulaakulanya Obwakabaka, tulina okukola emikwano n’abantu abava munsi yonna. Era guno mukisa gwamanyi okusisinkana omubaka wa Bufalansa kubanga tukimanyi nti y’emu kunsi zikirimegga,” Mayiga bwagambye. Agasseeko nti era bayogedde ku kampuni yamafuta eya Total E&P egenda okuzimba omudumu gw’amafuta okuva e Bunyoro okuyita mu Buganda, n’agamba nti balowooza bayinza okukolagana nayo nebayamba okuzimba amasomero, amalwaliro omudumu gyegunaayita.