
Musasi waffe
Enguudo ezisinga obungi mu Kampala zigaddwa ng’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yeegasse ku Bannayuganda abalala okutambula mukaweefube w’okulwanyisa enguzi. Kino kireeseewo akalippagano k’ebidduka okwetooloola Kampala n’emirirwano. Aduumira Poliisi y’ebidduka mu Kampala n’emirirwanao Norman Musinga, eggulo yalaze enguudo ezigenda okuggalibwa kyenkana nga zonna eziyingira ekibuga azitwaliddemu. Ekiwandiiko era kyasabye abantu ababadde bagenda okwetaba mu kutambula, obutajja n’ammotoka. Bannayuganda bangi nga bayita kumitimbagano gyabwe nga Facebook ne Twitter, beemulugunyizza olw’okutaatagana kwebaddeko. “Museveni alimba nti alwanyisa nguzi, ngate ye giriisi atambuza emmotokaye era nga gemafuta agatambuza Uganda. Batulemesezza okukola mbu batambula ebitaliimu makulu,” Bwatyo Andrew Mwenda, munnamawulire omuguundiizu mu Kampala bweyategeezezza. Ate ye Sayidi Lukenge gwetusanze mu kkalippagano e Wandegeya agambye nti yabadde teyakitegedde nti enguudo zigenda kuggalwa. “Poliisi yandibadde alangirira bukyali nti olwaleero teri kujja mu Kampala okusinga okutuggalira amakubo gwonna,” Lukenga bweyategeezezza.








