Bya Musasi Waffe
Abalangira n’abambejja abava munju ya Ssekabaka Sir Fredrick Edward Muteesa II, batenderezza nnyo Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, olw’okubanaazaako ennaku oluvanyuma lw’okuzaama kwa kitaabwe. Nga bogerera mu Lubiri e Mmengo ku Lwomukaaga ekiro nga bajjukira nga bwegiweze emyaka 50 bukyanga Ssekabaka Muteesa II azaama, abalangira n’abambejja baagambye nti Kabaka Mutebi alina bingi nnyo byafanaganya ne kitaawe.
“Bingi ebyogeddwa ku Ssekabaka Muteesa naye balinga ababigamba Ssabasajja… obuntubulamu, obuvumu, obumalirivu, obwetowoza, okugaanira kunsonga. Baali balowooza batuziise, naye twameruka. Nkakasa Sabasajja Kabaka otukulembedde bulungi, otuweesezza ekitiibwa ng’abaana ba Muteesa era n’Obuganda bwonna. Ennaku zino omuntu bwakuyita nti toil Muganda oyagala kumukuba bikonde,” Bwatyo Omulangira David Wasajja, eyakiikiridde abalangira bweyategeezezza.
Ate yye, Naalinnya, Sarah Kagere yagambye nti akasambattuko ka 1966 kabakosa nnyo ng’abaana ba Muteesa. “Bweyagenda mubuwanganguse yabanga eggiraasi ekuvudde mungalo n’egwa n’eyatika ebipapajjo n’ebigwa yonna gyebyagala. Twebaza Katondo olw’emyaka gino 50, atuwadde obulamu, tuzadde abaana, n’abaana baffe bazadde baana bannaabwe,” Kagere bweyategeezezza. Yagasseeko nti ekyabategesezza omukolo kwekwagala okumanyagana ng’abenju kuba baali basaasaanye.
“Tubadde twagala okujjayo ekifananyi kya taata waffe abaana baffe bamutegeere…Tumaze ebbanga ddene nga byeyakola abantu batandise okubibuusa amaaso. Tulowooza nti n’ewankubadde ettaffaali lyeyassa ku ggwanga ttono, naye lyogerweko,” Kagere bweyagambye. Omukolo gwetabiddwako Ssabasajja Kabaka, Maama Nnabagereka Sylivia Nagginda, baminisita e Mmengo, abakungu mugavumenti yawakati ne Mmengo, abalangira n’abambejja, n’abantu abalala bangi.