Bya Arthur Kalumba – Bulange
Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye ekibiina ekitaba abakyala abalamuzi mu nsi yonna, International Association of Women Judges, ekiwayi ky’e Uganda.
Katikkiro asabye abalamuzi okuwa obudde emisango egirimu abantu abeetaaga okubeerwa kubanga bangi ku bbo tebamanyi bikwata ku mateeka.

Mukuumaddamula annyonnyodde nti abantu omuli; abaana, abakadde, n’abakyala babakola ebintu bingi kubanga eddembe lyabwe tebalimanyi, mu buwufu obwo betaaga okuyambibwa basobole okufuna obwenkanya baganyulwe mu by’amateeka.
“Abakazi abamu batera okugamba nti omusajja bwatankuba mba simanyi nti anjagala, ekyo kikyamu ayinza okukumenya amannyo”. Katikkiro bw’ategeezezza.
Abalamuzi banjulidde katikkiro enteekateeka z’ebalina mu kukendeeza embeera evaako obutabanguko mu maka ate n’okubudaabuda abakyala abakoseddwa obutabanguko, naabo abaakakkibwa omukwano.

Bagambye nti balina enteekateeka y’okuyigiriza abakyala emirimo gy’emikono okugeza; okusiika kabalagala, okuluka ebibbo n’eby’emikono, okulima n’okulundira awafunda ssaako n’okubasomesa emisomo egy’enkulaakulana.
Enteekateeka eno eruubirira okutuuka ku bantu 1000.
Obwakabaka buzze buvaayo n’enteekateeka eziyamba ku bantu abetaaga okubeerwa, omuli okuzimbira abantu ennyumba, okusomesa abaana era Ssaabasajja Kabaka ayagala abantu abeetaaga okubeerwa basembezebwe ku mwanjo basobole okutegeera eddembe lyabwe.
“bwetuba abo’kutaasa abeetaaga okubeerwa balina okusooka okutegeera amateeka, baddemu amaanyi basobole okunoonya obwenkanya”.
Omulamuzi Olive Kazaarwe Mukwaya, omukulembeze w’ekibiina kino mu Uganda, annyonnyodde nti ku misango egiri mu mbuga z’amateeka, ebitundu 60% gy’ekuusa ku butabanguko mu maka n’okukaka abakyala akaboozi.
Mu buwufu obwo baagala bakwatagane n’Obwakabaka okumalawo embeera eno nga bayita mu nteekateeka okuli; okussaawo empaka z’amasaza mu muzannyo gw’okubaka, okukozesa ekisaakaate kya Nnaabagereka okusomesa ku bikwata ku butabanguko mu maka, ensiisira z’eby’obulamu, wamu n’okussaawo ekifo abatulugunyiziddwa, n’abakakiddwa akaboozi gy’ebaloopa.

Ebifo bino bagamba nti byetaaga bitegekebwe ku mbuga z’e ggombolola abantu we bajja okutuukira amangu.
Ssaabawolereza w’Obwakabaka, Oweek Christopher Bwanika yeyamye nti Obwakabaka bwetegefu okukolagana n’ekibiina kino okulaba nga emisango emitonotono gigonjoorwa ku bitaawuluzi kimalewo omujjuzo gw’emisango mu mbuga z’amateeka.









