Bya Arthur Kalumba ne Huzair Jjuuko Wassajja
Ensimbi obukadde 172,788,000/= bwe buleeteddwa abantu ba Kabaka okuva mu Masaza n’ebitongole eby’enjawulo mu nkola ya Luwalo Lwaffe.
Katikiro Charles Peter Mayiga asabye abasubuuzi obutava mumulimu guno wabula bemanyiize okuwandiika ebitabo ebiraga enfulumya wamu n’enyingiza y’ebintu kibayambe okubeera nentebya kwebyo byebakola kijja kubayamba nnemunkolagana yabwe nabeemisolo.
Abawadde ekyokulabirako eky’obwakaba, emirimu gitambulira ku bwerufu kyekibukuumidde waggulu.
“ bambuuza, mbu ehh, ebintu byaffe biggwawo, ebyaffe ebiggwawo byebiriwa? Era ababingamba mbagamba nti yii, oba nga Kabaka Daudi Chwa yakuuma obwakabaka nga talina TV na leediyo, ate olwo Kabaka Mutebi alina leediyo?
Kati obuganda buggwawo butya? Obuganda tebulina gy’ebudda nakatono. Tuli banywevu, Tuli Gumite”. Katikkiro bwategeezezza.

Katikkiro akunze abalimi nti newankubadde ekyeeya kyayonoona emwanyi kwossa nebirime binji naye basime enzizi ezisobola okubayambako okufukirira emwanyi kubanga emwanyi terimba singa eba erabiriddwa bulunji.

Katikiro era akubirizza abantu ba Kabaka okubeera abegendereeza muntambuza y’ebintu byebakola okukendeeza ku nsasaanya y’ensimbi.
Abawadde amagezi okukendeeza ku mikolo gyebakola, engendo zebatambula nabuli kintu ekitwala ensiimbi enyigi kuba ebyo byona biviiriddeko sente okunabuuka.
Oweekitiibwa Joseph Kawuki minister wa government ez’ebitundu yebazizza nnyo abantu ba Kabaka olwokuyayana nga okujja embuga nga baleeta oluwalo. Oweek yebazizza nnyo ba nnabitone tondeka muluwalo abakulebeddwamu omwami wa Kabaka mariam Ndagire owa Mumyuka Nabweru, Kyaddondo cbs pewoso, abavubuka okuva e singo nabaami ba Kabaka bonna abakulembeddemu abantu ba Kabaka.
Akuuma entebbe ya kayima Hajji Hassan Kasujja Kagga akulembeddemu abaami bonna abakiise embuga leero abeebazizza nnyo olwomulimu omulungi n’ensimbi zebaleese wabula nabasaba obutaddamu kuleeta bibasoomoza mbuga wabula okubisalira nga amagezi babivuunuke.

Meeya w’ekibuga Mityana Faustine Mukambwe atenderezza nnyo Obwakabaka olwokusitula abantu ba Kabaka nga bayita mu by’obulimi nga emwanyi esitudde embeera za bantu mubyefuna.











