Musasi Waffe
Omumyuka wa Katikkiro asooka era Minisita w’ebyemirimu n’obuyiiya, Oweek. Prof. Twaha Kigongo Kawaase asabye abavubuka abayingira obufumbo okuwuliziganya wamu n’okwewa ekitiibwa kisobozese obufumbo bwabwe okuwangaala. Bino abyogeredde mu Lutikko ya St. Paul e Namirembe ku mukolo gw’okugatta abagole Daniel Mwesigwa ne Justine Nakiridde. Daniel Mwesigwa mutabani w’omulabirizi we Namirembe, kitaffe mu Katonda Wilberforce Kityo Luwalira.
Kawaase yebazizza abagole olw’okuvaayo nebagattibwa era kino nagamba kyakulabirako eri abavubuka ba Buganda abalala kubanga guno omulembe Ssaabasajja Kabaka yagubawa n’olwekyo basaanye okukola ebyo ebiweesa Buganda ekitiibwa.
Omukolo gwetabiddwako, Nnabagereka Sylivia Nagginda, Omumyuka wa Katikkiro owokubiri era minisita w’eby’ensimbi, Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa, Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda omulonde, Stephen Kazimba Mugalu, omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda eyawummula, Owek Nelson Kawalya, bannaddiini, abakungu okuva mu Gavumenti ye Mengo neya wakati, n’abebitiibwa abalala bangi.