Bya Gerald Mulindwa
Kiboga – Ssingo
Bino bibadde mu kwogera kwa Minisita wa Bulungibwansi, Obutonde bwensi, Amazzi n’Ekikula ky’Abantu, Owek. Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja, bw’abadde aggalawo omusomo ku ddembe ly’abantu okusalawo ku nsonga z’okuzaala n’obutafumbiza baana bato, ogw’ennaku ebbiri ku mbuga y’e ggombolola Ssaabawaali Kapeke, e Kiboga mu Ssaza Ssingo, n’ategeeza nti ennyambala ekola kinene nnyo okutengula agasajja ga kaggwensonyi okukozesa eryanyi okutunuza abawala abato mu mbuga ya sitaani. Wano w’asabidde abazadde okufaayo ku ddembe ly’Abaana, bakuzibwe mu mpisa z’obuntubulamu.

Omukwanaganya w’ebyobulamu mu Bwakabaka, Omw. David Muwonge nga y’abadde omusomesa omukulu, akubirizza abantu obutekkiriranya ku nsonga z’Abaana abakabasanyizibwa, n’abafumbizibwa nga bakyali bato.
Asabye abaami n’Abakyala okuwangana ekitiibwa buli omu atuukirize obuvunaanyizibwa bwe mu nkuza y’abaana, babeere eky’okulabirako ekirungi, beewale ettamiiro n’okukozesa ebiragalalagala ebibawugula n’oluusi ebibaleetera okukabasanya abaana be bazaala.

Omwami w’e ggombolola lino Ssaabawaali Kapeke, John Bosco Ssennyondo yeeyamye okukulemberamu kaweefube w’okulwanyisa ebikolwa ebityoboola eddembe ly’omwana mu kitundu kino.










