Bya Gerald Mulindwa
Mutundwe – Kyaddondo
Ssettendekero wa Kampala University etegese ekivvulu ky’eby’obuwangwa obutali bumu obw’abayizi abasomerayo mu matabi gaabwe ag’enjawulo okwetoloola Uganda.

Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone, Oweek Robert Sserwanga Ssaalongo, nga yabadde omugenyi omukulu ku mpaka zino ezitegekeddwa ku ttabi ly’e Mutundwe, alaze amaanyi agali mu kwenyumiriza mu kyetukkiririzaamu n’okuwa obuwangwa obulala ekitiibwa netufuuka muntu omu mu kukola ensi ennungi.
“Ba Ssebo ne bannyabo tuli wano mu Kampala University nga tuzze okulaba amaanyi agali mu gyetuva. Ffe okusobola okulaba amazina, ennyambala oba n’ebintu bye tulya eby’enjawulo tekimala kutegeeza nti oli ekyo kyoli, naye empisa, obulombolombo, ennono zetugoberera nga abantu, ziva waffe, bwetwegatta ne bannaffe netulaba bye balina, okugeza; bazina mazina ga kika ki, bakola mirimu gifaanana gitya, ekyo kijjayo ffe okukkiriza okwagala bannaffe, okubawa ekitiibwa mu kyebakkiririzaamu kubanga tukitegedde era ffe nga omuntu tuli omu mu kukola ensi eno okubeera ennungi”, Ssaalongo Sserwanga bw’ategeezezza.
Yebazizza abakulira ssettendekero ono olw’enteekateeka y’e kivvulu kino, kubanga matendekero matono nnyo agavaayo n’enteekateeka y’e kivvulu ky’okwolesa obuwangwa bw’Abayizi.

Asibiridde abayizi abapya mu ssettendekero ono, okujjukira eky’abaleeta mu ttendekero nti kwe kusoma era bafube okulaba nga bakungaanya amagezi mu buli kanyomero ka ssettendekero basobole okudda ewabwe nga balina enjawulo gyebaleetawo mu bitundu gye bava.
Ye Omutandisi w’amatendekero gano, Oweek Prof. Badru Kateregga, yebazizza abayizi wamu n’abayigisa abafubye okwolesa obuwangwa obw’enjawulo nga bayita mu nnyimba, ebivuga, amazina, n’ebitontome mu kaweefube agendereddwamu okutumbula obuwangwa bwa buli muyizi, basobole okubweyagaliramu n’okubwenyumirizaamu.

Omukolo gwetabiddwako; Minisita w’Amawulire okukunga era omwogezi w’Obwakabaka, Oweek Israel Kazibwe Kitooke, Omukungu John Fred Kiyimba Freeman, Minisita w’Abavubuka eyawummula, Oweek Florence Bagunywa Nkalubo, ne bannabyanjigiriza abatali bamu.











