Bya Gerald Mulindwa
Ggunda Bukunja – Kyaggwe
Munyweze Obukulembeze Okusobola Okukulaakulanya Ebika N’okubinyweza.Bino byogeddwa Minisita w’Eby’Obuwangwa, ennono n’obulambuzi, Oweek. Anthony Wamala bw’abadde alambula obutaka bw’essiga lya Kamyuka Mugalu e Ggunda Bukunja mu Kyaggwe.

Oweekitiibwa Wamala yeebazizza nnyo Olukiiko olukulembeze olw’essiga lino olukulemberwa Katikkiro Omw. Ntulume Jonathan olw’enteekateeka n’enkulaakulana ezikoleddwa ku butaka bwabwe. Abakulisizza obuwanguzi bwe batuuseeko naddala obw’okununula ettaka lyabwe eriweza square mile n’abakuutira okulaba nga balikuuma n’okulikulaakulanya.
Ye Katikkiro w’Essiga lino, Mw. Ntulume Jonathan yeebazizza nnyo Oweekitiibwa Wamala olw’okubalambika n’obutakoowa kulambula nteekateeka zaabwe ku butaka. Ategeezezza nti byonna ebituukiddwako bivudde mu bumu, obujjumbize, obukozi n’okwagala kw’abakulembeze baakola n’abo.

Yeyamye okulaba nga ettaka lyabwe likuumibwa wamu n’okukulaakulanyizibwa n’asuubiza nti bajja kufuuka kya kulabirako eri Ebika ebirala byonna.
Mu nteekateeka eno, Oweekitiibwa Wamala yasoose kulambula ssomero lya Kwagalakwe Day and Boarding Primary School e Seeta Ggwafu mu Mukono, eryatandikibwa Katikkiro w’Essiga lya Kamyuka Mugalu Omw. Ntulume Jonathan.


site-verification-ok









