Bya Samuel Stuart Jjingo
Mengo – Kyaddondo
Omumyuka Asooka owa Katikkiro era Minisita w’obuyiiya n’entambuza y’emirimu Oweek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, akunze banna Gomba okujja mu bungi e Wankulukuku nga ttiimu yaabwe erwana okuwangula ekikopo eky’omukaaga bwe banaaba battunka ne Kyaggwe mu mupiira ogw’akamalirizo nga 31 Mukulukusabitungotungo.

Prof. Twaha Kaawaase asinzidde mu Bulange bw’abadde akwasibwa omujoozi gwa Gomba ogumuweereddwa Maneja wa ttiimu eno Muky. Resty Mbatidde Namugema.
Oweek. Kaawaase ataddewo emitwalo kkumi (UGX 100,000) ku buli ggoolo enaateebwa omuzannyi wa Gomba, ate emitwalo emirala ataano (UGX 500,000) singa bawangula ekikopo.Oweek. Kaawaase alabudde banna Kyaggwe okujja n’ebisero bya goolo kubanga Gomba ebeetegekedde.










