Bya Samuel Stuart Jjingo
Kyango – Mawokota
Okusimba emiti ku butaka bw’Ekika ky’Akasimba.

Bazzukulu ba Kabazzi bakwataganye ne Rotary Club ya Bulange, ne basimba emiti ku butaka bwabwe e Kyango Mawokota nga omu ku kaweefube w’okukuuma ettaka ly’Obutaka bwabwe n’obutondebwensi.
Bano bayambiddwako Minisita w’obuwangwa ennono n’obulambuzi, Oweek Dr Anthony Wamala, annyonnyodde nti okusimba emiti ku ttaka ly’Ekika limu ku makubo aganaayitibwamu okukuuma obugagga bw’Ebika.

Okusimba emiti kwesigamiziddwa ku mulamwa; “Kuuma obutonde nga osimba omuti, ensi ogifuule eky’omuwendo”.










