Bya Arthur Kalumba ne Gerald Mulindwa
Stockholm – Sweden
Kabaka Foundation, ettabi ly’e Sweden lyegasse ku malala okujaguza emyaka 30 egy’ekitongole kino.

Ettabi lya Kabaka Foundation e Sweden lyegasse ku matabi amalala okwetoloola ensi yonna okujaguza emyaka 30 nga ekitongole ekyatandikibwawo Ssaabasajja Kabaka kiweereza abantu be mu nkulaakulana eziyamba ebitundu bya Buganda eby’enjawulo okuyita mu nteekateeka ez’enjawulo omuli; eby’obulamu, eby’obulimi n’ebyenjigiriza.
Omukolo oguteekateeka ebijaguzo gutegekeddwa ku Events hall Piazza Blu, Hallonbergsvägen 5 Sundbyberg e Stockholm.

Omubaka wa Ssaabasajja Kabaka mu Ssaza Scandinavia, Oweek Nelson Mugenyi, yebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okutandikawo ekitongole ki Kabaka Foundation, era akubirizza abantu ba Kabaka okwenyigira mu mirimu gya Kabaka foundation kubanga gikulaakulanya muntu wa wansi asookerwako.
Mu bigambo bye, Ssenkulu wa Kabaka Foundation, Omukungu Edward Kaggwa Ndagala akubirizza olukiiko n’abantu ba Kabaka mu Sweden okusigala nga bewaayo okuweereza n’okunyweza amaanyi gaabwe ag’awamu okutuukiriza emirimu gya Kabaka Foundation.
Asinzidde wano n’abanjulira enteekateeka ya Tubeere Balamu Yinsuwa, nga guno gwe mukago ogw’obujjanjabi ogutegekeddwa okuyamba abantu ba Kabaka okufuna obuweereza mu by’obulamu ebirungi mu biseera eby’obuzibu, n’abasaba okwaniriza enteekateeka eno eyitimuke abantu basobole okugiganyulwamu nga bafuna obujjanjabi bwe beetaaze.










