Bya Huzair Jjuuko Wasajja
Mmengo – Kyaddondo
Abantu ba Kabaka okuva mu masaza okuli Kyaddondo, Ssingo, Busiro, Mawogola, Bugerere, Kkooki, Butambala, Ggomba n’amalala beetikkidde Ssaabasajja Kabaka amakula nga ogumu ku mukolo gw’okukuza olunaku lwa Bulungibwansi ne Gavumenti ez’Ebitundu.Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu okulambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki, y’atikkudde amakula gano ku lwa Katikkiro.

Kamalabyonna yeebazizza nnyo abaleese amakula n’abajjukiza nti okuleeta amakula ga Kabaka kabonero ka nkukunala era kooleka obwagazi abantu bwe balina eri Nnamulondo n’okuzza Buganda ku ntikko.

Katikkiro era yeebazizza abaami ba Kabaka olw’obutakoowa kujjukiza bantu buvunaanyizibwa bwabwe okuliikiriza n’okulabirira embiri za Ssaabasajja, newankubadde nga mulimu abamu abateefiirayo kyokka abaami ba Kabaka nebafuba okubajjukiza.

Akuuma entebe ya Kayima, w’Essaza Mawokota Hajjat Hassan Kagga Kayima yebazizza abaami b’Amasaza n’abamagombolola olw’okukunga abantu nebaleeta amakula agawerako.










