Bya Samuel Stuart Jjingo
Nakawa – Kyaddondo
Eddwaliro lya Corsu linoonya obukadde 400 okukola ku baana abaliko obulemu.

Mu kaweefube w’okunoonya ensimbi zino, eddwaliro lino litegese okutambula okw’okusonderako ensimbi okutuumiddwa Corsu Disability Walk 2026, ku mulamwa ‘okuwa abaana abaliko obulemu essuubi’,

Emisinde gino gyisimbuddwa Omumyuka owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika w’Obwakabaka, Oweek Robert Waggwa Nsibirwa, ku kisaawe kya Makerere University Business School e Nakawa. Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa, agamba nti mu mpisa za Buganda, mulimu obuntubulamu, okugeza; okuwagira omuntu eyetaaga okubeerwa nga tosuubira magoba, bw’atyo asabye abantu ba Buganda okwongera obuntubulamu mu ngeri zonna badduukirire kaweefube w’eddwaliro lya CoRSU ow’okulongoosa abaana basobole okutambula era bakole emirimo nga bannaabwe abalala.










