Bya Author Kalumba
Mmengo – Kyaddondo
Obwakabaka bwa Buganda busiimye abasomesa olw’omulimu gwe’balina mu kuzimba omulembe oguddako.Omugenyi omukulu ku mukolo guno abadde Minisita w’Eby’enjigiriza mu Bwakabaka, Oweek. Chotilda Nakate Kikomeko.

Professor Patrick Kyamanywa, akulira Uganda Martyrs University asabye abasomesa okubeera eky’okulabirako ekirungi eri abayizi, kubanga abaana bayiga bingi okuva ku mpisa n’enneeyisa y’abasomesa baabwe.
Prof. Kyamanywa era asabye Obwakabaka okwongera okussa essira ku kutendeka n’okutumbula abasomesa basitule omutindo kubanga omutindo gw’omusomesa gukwata butereevu ku mutindo gw’abaana baasomesa.

Omukolo guno gubaddemu n’okusiima abasomesa abaalaze obukulembeze n’obusukkulumu mu mirimu gyabwe.Abasomesa 15 okuva mu masomero gobwakabaka ku mitendera gyonna aboolesezza obuntu bulamu mu mirimu gyabwe basiimiddwa.
Minister w’ebyenjigiriza mu Bwakabaka Owek Chotilda Nakate agambye nti buli mwaka basiima omusomesa omu okuva mu buli somero. Emikutu gyamawulire CBS ne BBS nagyo gisiimiddwa olw’okutumbula ebyenjigiriza.
Akulira Olukiiko oluddukanya eby’enjigiriza mu Bwakabaka, Oweek. Zawedde Ssetyabula, asiimye abasomesa olw’omulimu gwe bakola era n’abakubiriza okubeera abayiiya n’okukozesa obukodyo obupya mu kusomesa.










