Bya Pauline Nanyonjo
Mmengo – Kyaddondo
Kaggwa Charles awangudde empaka za Atamukkutte 2026 eziwakanirwa abalungamya b’emikolo gy’obuwangwa n’ennono ezibadde ziweerezebwa ku BBS terefayina buli Sande.

Kaggwa awangulidde ku bugoba 23 n’aweebwa ekyapa ky’e ttaka n’ebirabo ebiwerako.
Ku lwa Katikkiro, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Oweek Patrick Luwaga Mugumbule, akubirizza abalungamya b’emikolo okwongera okugaziya olulimi oluganda nga baggyayo ebigambo ebinyuvu mu bitabo by’oluganda eby’enjawulo ebyawandiikibwa, nga essira lyabyo liteereddwa ku lulimi Oluganda okubasobozesa okusomesa eggwanga.
Oweek Mugumbule awabudde abalungamya b’e mikolo okutaanuula ku bigere beetabe ne ku mikolo emirala okuli embaga, amatikkira g’abayizi, amazaalibwa g’abantu, ennyimbe n’emirala.

Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba, anokoddeyo ebirungi ebivudde mu kaweefube w’Abalungamya b’emikolo okuyigiriza abantu obuwangwa nga basinziira ku mikolo egitali gimu okuli; okumanya entambuza y’emikolo entuufu awatali ku kunukkira mu kwogera wadde okuseerera mu lulimi.
Omutaka Namwama asiimye nnyo Abalungamya b’emikolo olw’okukkiriza okuyigirizibwa okuva mu Bataka nga kati buli kyebakola kiva butereevu mu kakkalabizo yabwe.

Minisita w’obuwangwa ennono n’obulambuzi, Oweek Anthony Wamala asinzidde ku mukolo guno n’alaga amakulu agali mu lulimi Oluganda kyannyonnyodde nti ke kalambe Abaganda kebalina akabaawula ku mawanga amalala nga oluganda luyina amakulu amakusike, n’asiima abalungamya olw’obuyiiya obutumbula okumanya mu bannansi.
Omukolo gukutte abantu banji omubabiro era wano n’akulira enzikiriza y’ebyobuwangwa n’ennono Ssabakabona Jjumba Lubowa Aligaweesa asanyukidde nnyo enteekateeka eno era neyebaza olw’okubateerawo Terefayina ekoze omulimo gw’okutumbula obuwangwa n’ennono nga eyita mu lulimi oluganda.

Abawanyi bavuganyizza bwebati; Kaggwa Charles obubonero 23, Maseruka Stephen 19, Ssentamu Mikayiri, 13, Ssenkinga Ronald 12, Kasagga Robert 5.










