Bya Musasi Waffe
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni awakanyizza ekirowoozo kyabakulembeze babayizi e Makerere abasaba ssentedekero ayongezeeyo obudde bw’okukolerako ebigezo ebyakamalirizo eby’olusoma luno. Nga asisinkanyeemu abakulembeze ba Makerere mumaka g’obwapulezidenti e Nakasero, Museveni yagambye nti abo bawagira okwongezaayo ebigezo bebaagala okulemesa ssetendekero ono. Mukiwandiiko ekyafumiziddwa amaka g’obwapulezidneti oluvanyuma lw’ensisinkano eno eyetabiddwamu ne minisita w’ebyenjigiriza era mukyala w’omukulembeze w’eggwanga Janet Museveni, pulezidenti yasabye abakulira ssetendekero ono okukola okunonyereza ku bisale ebisasulwa amatendekero ga gavumenti amalala wamu n’ago agali mu mawanga g’obuvanjuba bwa Africa.
Museveni yagasseeko nti era kikyamu Makerere okusasula abakozi baayo ng’ekozesa sente abaana zebasasula. “Bano bakozi ba gavumenti, bateekeddwa okusasulwa ku sente za gavumenti so si zabisale abayizi byebasasula,” Museveni bweyagambye. Omukulembeze w’eggwangaera yazzemu nakinoganya nti kikyamu amagye okuyiibwa mu Makerere okukakanya obujagalalo kubanga tegalina bumanyirivu munsonga eno. “Obweraliikirivu bwanga mukussa amagye e Makerere buli nti amagye tegatendekebwa mubintu bya bujagalalo. Galina kukola kubintu nga obulumbaganyi bwa batujju. Basobola okuyambako poliisi wabula sigeegateekeddwa okuba kumwanjo. Ngenda k’ogeramu n’akulira poliisi Martin Okoth Ochola abagewo enteekateeka y’okukuuma e mirembe e Makerere,” Museveni bweyagambye. Kyenkana ssabbiiti bbiri ng’abayizi be Makerere beerya omuguju oluvanyuma lwa ssentendekero ono okulangirira nti yali agenda kwongeza ebisale okutuuka ku bintundutundu 15. Kino abayizi baakiwakanya nga bagamba nti ezo sente abazadde baabwe tebazirina. Amagye ne poliisi byabalumba mubisulo byabwe nebabakuba emiggo wamu n’okubeezulunza muttaka, ekintu ekyavumirirwa ennyo abantu n’ebitongole eby’enjawulo.