Bya Samuel Stuart Jingo
Mmengo – Kyaddondo
Gavumenti nga eyita mu Minisitule y’Ebyenjigiriza, eyanjulide Obwakabaka ennongoosereza mu tteeka erirungamya ensomesa y’abaana abali ku mutendera gwa nassale nga muno mulimu eky’okugereka ebisale by’amasomero, eky’abaana okusomesebwa obutasukka ssaawa ssatu mu lunaku, eky’abaana b’eggwanga bonna abato okukifuula eky’etteeka okusoma nassale, n’abaana obutakuumibwa mu bisulo.

Bw’abadde akwasibwa ennongoosereza zino , Minisita w’Obwakabaka ow’Enkulaakulana y’Abantu era avunaanyizibwa ku by’enjigiriza Oweek. Choltilda Nakate Kikomeko akakasiza nga Obwakabaka webugenda okukolera wansi w’ennambika eno evudde mu gavumenti.
Minisita Nakate asiimye ebimu ku birowoozo by’Obwakabaka okuteekebwamu nga; eky’okusomesa abaana mu nnimi enzaaliranwa, era agamba nti amasomero bweganaabiteeka mu nkola eby’enjigiriza byakukyuka mu ggwanga.
Amyuka Kamiisona w’Ebyenjigiriza mu bya nassale mu gavumenti yawakati, Dr. Saafina Mutumba agamba nti enkyuukakyuka zino zaakoleddwa okuyambako mu kusitula omutindo gw’ebyenjigiriza mu baana okuviira ddala nga bakyali bato.

Kyazuulibwa nti abatandisi baamasomero ga nassale awamu naabagasomesaamu tebalina nnambika ntongole yonna gye bagoberera mu nsomesa yaabwe, nga wano minisitule etunuulide nyo n’ekyokusooka okukakasa obuyigirize bwaabwe.









