Bya Samuel Stuart Jingo
Mmengo – Kyaddondo
Obwakabaka bukuzizza Olunaku lw’Omutima mu nsi yonna era ebitongole by’Obwakabaka bikoze dduyiro owa bonna ku Bulange.

Katikkiro Charles Peter Mayiga naye abadde wamu n’abakozi ba Kabaka mu kukola dduyiro, n’agamba nti abantu baasanidde okutwala obulamu bwabwe nga eky’omuwendo nga bagoberera abasawo kye babagamba.
“Omuganda agamba nti obulamu mutuba, bwotaguwembera togufuna. Tosobola kutuula awo n’ogamba nti ggwe tosobola kulwala mutima, ensigo oba entunnunsi n’olwekyo tusaanide okutwala ebintu abasawo bye batugamba nga eby’omuwendo,”Katikkiro.

Kamalabyonna akubirizza abantu okulabirira obulamu bwabwe nga bakola dduyiro nga bweri enkola ku Bulange, okulya emmere entono, obutanywa mwenge guyitiridde, okwekuuma obulwadde bwa mukenenya n’ebirala.
Ow’omumbuga agamba nti omuntu omulamu asobolera ddala okukola n’atuuka ku byayagala, naye ate omutima, y’entabiro ya buli kimu mu mibiri gy’abantu n’olwekyo yeebazizza nnyo aba Health Heart Foundation awamu ne bannamikago abatambula n’Obwakabaka abaluubirira okulaba nga emitima gy’abantu miramu bulungi.
Minisita w’Enkula y’Abantu era Avunaanyizibwa ku woofiisi ya Maama Nnaabagereka Oweek.
Choltildah Nakate Kikomeko, yeebazizza nnyo abantu bonna abatambudde n’Obwakabaka ku mulamwa guno, mu butale, mu ppaaka z’ebidduka okuwa obujjanjabi abantu ba Beene.

Ye Ssenkulu w’Ekitongole ekiwomye omutwe mu mulimu guno, ki Health Heart Foundation Oweek. Rita Namyalo Waggwa annyonnyodde olutabaalo nga bwelubadde okuviira ddala wiiki ewedde lwe baatandika okutalaaga obutale bwa Kabaka era basobodde okukebera n’okujjanjjaba abantu abasobye mu 1000 endwadde okuli; entunnunsi, ssukaali, n’endala.
Dr. Ssebuliba Moses Kiwanuka okuva mu ddwaliro ly’emitima e Mulago agamba nti ensangi zino obulwadde bw’omutima bwe bumu ku businga okutta abantu mu Uganda.
Nga yesigama ku bibalo by’ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna ki World Health Organization, ebirwadde eby’ekuusa ku mutima bitta abantu 32 ku buli 100 buli mwaka nga ate bitta abantu abakyali mu myaka emito.
Olunaku lw’Omutima mu nsi yonna lugenda kukuzibwa enkya nga 29.










