Bya Samuel Stuart Jjingo
Mmengo – Kyaddondo
Omumyuka wa Katikkiro ow’Okubiri era Omuwanika Oweek.
Robert Waggwa Nsibirwa akwasiddwa obujoozi bw’okutambula n’okudduka okufuna ensimbi ez’okudduukirira abantu abalina obulemu ebitegekeddwa eddwaliro lya Corsu-Kisubi, emisinde gya kusimbulwa ku ttendekero lya Makerere Business School e Nakawa nga 4 omwezi ogujja.

Oweek. Waggwa Nsibirwa asinzidde wano n’akunga abantu okwetoloola Uganda yonna okudduukirira omulanga guno nga bagula obujoozi n’okuwayo ensimbi ezetaagibwa okutuusa obujjanjabi eri abaana abalina obulemu.
Akulira Eby’obulamu n’Enkwanaganya y’Emirimu, Muky. Dorothy Namayanja Kiwanuka agamba nti eddwaliro lya Corsu liyamba abaana abalina obulemu n’abantu abasoba mu 3000 nga babalongoosa, n’okubafunira obugaali n’amagulu amakolerere, wabula olw’obwetaavu obubeerawo mu mwaka gwonna, beesanga nga balina okusoomoozebwa kw’ebbula ly’ensimbi okufuna ebikozesebwa era eno y’ensonga lwaki bategese okutambula kuno.

Obujoozi buteereddwa ku matundiro ag’enjawulo okuli; MUBS e Nakawa, BBS Terefayina, Entebbe Hospital, Rapid Advisory ne mu bifo ebirala.









