Bya Huzair Jjuuko Wasajja
Ssanda Nakawuka- Busiro
Obwakabaka busaasidde nnyo munnakatemba Charles James ssenkubuge olwokuviibwako mukyala we Agnes Lillian Ndagire Ssenkubuge.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ku lw’obwakabaka mu bubaka bwatisse Minisita wamawulire okukuunga era omwogezi w’obwakabaka Owek Israel Kazibwe kitooke, asaasidde Mwami Ssenkubuge, Maama w’omugenzi wamu n’abenganda okutwaliza awamu olwokuviibwaka omuntu wabwe.Katikkiro agamba nti amawulire agokufa kwa Agness kwabakubye entiisa n’okunyolwa kunji nnyo.
“Nsaasira nnyo Maama mukyala Marry Magret Kiddukanya Nsubuga olwokufiirwa omwana we abadde amulabirira mu bukadde bwe, maama ono afiiriddwa abaana be abalala ate ne kitaawe nolwekyo tukwasa tumukwasa katonda amusibe ekimyu, mungeri yemu nsasira mwanyina wa Agness Mw. Fortunate Bintubizibu ono twali naye e St. Mary’s College Kisubi kyokka nali waggulu we” Katikkiro.

Katikkiro era asaasidde mwami Ssenkubuge olwokuviibwako mukyala we gwabadde ayagala ennyo.
Mungeri y’emu, Katikkiro atenderezza mukyala Agness olwokubeera omunyikivu mu nsonga z’eddiini.
“Mukyala Agness Lillian Ndagire Ssenkubuge abadde nekitone ekyokuyimba era abadde omu kubayimbi ab’essaawa ekkumi 4:00pm mu christ the king church era abadde abadde munyiikivu mu nsonga za Klezia nolwekyo twebaza katonda olwobulamu bwamuwadde nebyamusobozesezza okukola” Katikkiro.

Charles James ssenkubuge ono nga ye mwami w’omugenzi wamu ne family nga bakulembeddwamu Hon Minisita Kiryowa Kiwanuka Mugambe Minisita webyokwelinda mu ggwanga, bebazizza nnyo abo bonna abababeereddewo mu mbeera Agness okuva lweyalwala okutuuka lwavudde mu bulamu bwensi.
Maama wa Agness mukyala Marry Magret Kiddukanya Nsubuga, yebazizza nnyo abantu abavudde ebule nebweya nebajja okuwerekera muwala we, ono agamba nti omwana we abadde ayagala nnyo katonda nga era eddiini gyabadde akulembeza, maama agamba nti Agness abadde muntu wa bantu era abadde alaga buli muntu omukwano gwegumu.
Abaana b’omugenzi balombozze omukwano maama gwabalaze abadde muzadde wambala gyebali mu ngeri yemu beyamye okusigala nga bassa kimu nga wadde maama taliiddamu kubeerawo webamwetagira era bagenda kusubwa nnyo omukwano ogwe wano basabye katonda abagumye era omyoyo gwa maama aguwummuze mirembe.

Mikwano gya Agness jisaaliddwa nnyo okuviibwako Agness olwomukwano gwabadde nogwo wano nebebaaza abazadde ba Agness olwokukkiriza nebabasembeza nga kati bafuuka family emu, bano basaasidde abenganda nemikwano era nabasabira omwoyo gwomugenzi omukama agulamuze kisa.
Munnakatemba Andrew benoni kibuuka ku lwa bannakatemba yebazizza omugenzi olwomukwano gwalaze bannabitone nga eno gyeyajja n’omwami gwayafumbirwaPastor bujingo agumizza abenganda wamu n’abemikwano obutagwamu manyi, era asabye omwami okusigala nga annyweredde ku katonda kubanga lyekubo namazima.

Mukyala Agness Lillian Ndagire Ssenkubuge yazalibwa nga 20 February 1963 nga wafiridde nga aweza emyaka egyobukulu 62 nga ono abaana wamu n’abazzukulu.
Okuziika ku kulembeddwamu ekitambiro ky’emisa nga ekulembeddwa Musinya Gerald Kalumba nga era kubadde ku kyalo Ssanda Nakawuka wakiso district era kwetabiddwako Minisita wakabaka Owek. Israel Kazibwe kitooke, omumyuka w’omukulembeze weggwanga eyammula Gilbert baalibaseka bukenya, Gen. Felix kulaije, Hon. Minister Kiryowa Kiwanuka, bannaddiini okuli Pastor bujingo, abenganda nemikwano n’antu abalala banji.










