Bya Pauline Nanyonjo
Mmengo-Kyaddondo
Abayizi abasomera ku nsawo ya Kabaka Education Fund (KEF) wamu naabo abaamaliriza emisomo gyabwe nga baaganyulwa ku nsawo y’emu, bakiise embuga ne baleeta oluwalo okwebaza wamu n’okuwagira enteekateeka za Nnamulondo.

Omukolo guno guyindidde ku Bulange e Mmengo nga batikkuddwa Omumyuka wa Katikkiro asooka Oweek Prof Twaha Kaawaase Kigongo.
Ku mukolo gwe gumu wabaddewo okutongoza n’okulayiza olukiiko olukulembeze olwa Kabaka Education Fund olusookedde ddala olwa “Kabaka Education Fund Alumni Association” nga lukulemberwa Kisaka Samuel Robnison nga Ssentebe n’amyukibwa Ssendyowa Francis, omuwandiisi ye Kalumba Arthur n’abalala.

Omumyuka wa Katikkiro asooka era Minisita wobuyiiya n’enzirukanya y’emirimu, Oweek Prof Twaha Kaawaase Kigongo, yebazizza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olw’okulengerera ewala n’akwatirako ku bazadde okuweerera abaana era neyeebaza amasomero agamukwatiddeko okutuukiriza enteekateeka eno.
Oweek Prof. Kaawaase asanyukidde nnyo enteekateeka ya KEF eno gyatuumye ‘Kabbo ka muwala, Okuzza omuzigo’ olw’obuwagizi bwe bawadde Obwakabaka mu nsimbi wamu n’okwongerayo omukululo ogwatandikibwa ebbanga ddene eriyise kyokka ne bagutambuza bulungi bwe batyo ekivuddemu okuzaala olukiiko olusookedde ddala.

Olukiiko luno alusibiridde entanda y’okuwabula bannaabwe abakyali mu masomero nga boolesa eky’okulabirako ekirungi gye bali bafune obuvumu obumaliriza emisomo nga bawanguzi.
Ku nsonga z’okuweereza Nnamulondo, Oweek Kaawaase akunze abayizi bano obuteerabira gye baava nga bazza omuzigo, abasabye beenyigire mu mirimu egitali gimu egyetaaga obukugu bwabwe okugeza abasawo beetabe mu nsiisira z’ebyobulamu ezitegekebwa Kabaka Foundation mu Masaza, n’emirimo emirala n’abasaba okwewayo okuweerereza mu bitundu gye bawangaaliranga bagatte ku bwetaavu obuliwo mu kitundu ekyo.

Abayizi abakyasoma nga bali wansi wa KEF, Oweek Kaawaase abakubirizza okugatta omutindo ku buli kye bakola nga beteekako olupimo mu misomo gyabwe wamu n’okwenyigira mu bukulembeze ku mitendera egitali gimu wamu n’okwettanira ebibiina by’Obwakabaka okugeza Nkobazambogo ekinaabasoboseza okulengera gye baagala okugenda.
Minisita w’Enkulaakulana y’abantu ne woofiisi ya Nnaabagereka, Oweek Choltilda Nakate Kikomeko alaze essuubi mu lukiiko lwa Kabaka Education Fund Alumni Association, okuweesa Buganda ekitiibwa mu mirimu gyonna gye bagenda okuteekateeka n’okukola nga gitwala Buganda ku Ntikko.

Ssentebe wa Kabaka Education Fund Alumni Association, Kisaka Samuel Robinson, ku lwa banne bonna yebazizza Nnyinimu okubateerawo ensawo y’okusomerako ebayambye okufuuka ab’omugaso eri eggwanga era bangi ku bano baweerereza mu bitongole eby’amaanyi ebyetaaga abantu abaasoma ne bannyikira mu kusoma.
Kisaka asabye abakyasomera ku nsawo ya Kabaka okunyikira okusoma bafuuke ab’Ensa abaweesa Kabaka ekitiibwa Omukwanaganya w’emirimu mu Kabaka Education Fund Emmanuel Kazibwe, alaze nti KEF emirimu egitambuza bulungi era buli mwaka ekitongole kifulumya abayizi abalina obukugu obw’enjawulo ekiggyayo obulungi okwolesebwa kwa Ssaabasajja.
Amyuka omukulu w’essomero li Lubiri High School Mmengo Campus, Namata Ritah atuusiza okwebaza eri Ssabasajja olw’okulengerera ewala n’atondawo enkola y’okusomesa abaana ba Buganda mu masomero gy’agambye nti eyambye nnyo abaana b’e ggwanga naddala abo abatalina mwasirizi okufuuka eky’omuwendo mu nsi.
Ono asabye banne bwe bakulira amasomero okukuuma omumuli Ssaabasajja gwe yakuma mu by’enjigiriza gusigale nga gwaka.

Amasomero agakiise era agali wansi wa KEF kuliko, Muteesa I Royal University, Metropolitan International University, Mengo school of Nursing and Midwifery, Synergy school of Health sciences, Mpigi mixed High School, Bbowa vocational Secondary School, St Jude SS Katende, Lubiri High Schools Mengo ne Buloba campus, Lubiri Nnaabagereka Primary school, n’amalala bonna awamu baleese oluwalo lwa bukadde 17,000,000/-









