Bya Huzair Jjuuko Wasajja
Mmengo – Kyaddondo
Minisita w’Emizannyo, Abavubuka n’Ebitone Oweek Robert Sserwanga Ssaalongo, asisinkanye bannalulungi b’ebyobulambuzi 2026 ku Bulange e Mmengo n’abalambika ku ntambuza y’obuweereza bwabwe kisobozese obukulembeze bw’abavubuka okuba obw’omugaso.

Bano Oweek Sserwanga abasabye okwenyigira mu buli nteekateeka y’obuwereza bw’Obwakabaka kuba gwe mukisa gwe balina okuteeka ettofaali ku Buganda eruubirira okudda ku ntikko.
Ssenkulu wa Buganda Heritage and Tourism Board, Omukungu Najib Nsubuga ajjukizza bannalulungi bano nti obulungi bwabwe tebuli ku ndabika ya kungulu wabula bulabikira mu mpisa, ebigambo, ebikolwa byabwe era n’abasaba essira baliteeke ku nsonga ezo.










