Bya Gerald Mulindwa
Ssaza Buvuma
Olusiisira lwa Tubeere Balamu mu Ssaza Buvuma lukomekkerezeddwa, abantu 150 be balongooseddwa endwadde ezitali zimu.
Dr. Kaggwa Soul, omusawo omukugu mu by’okulongoosa, ategeezezza nti mu nnaku musanvu zebamaze nga balongoosa abantu ku nkola y’obwannakyewa, balabye abalwadde 400, ne balongoosaako 150 ababadde batawanyizibwa endwadde nga; hernia, ebizimba mu bakyala n’endala eziwerako.

Kaweefube ono atuuseeko mu masomero agatali gamu era abayizi 850 babakebedde obulwadde bw’ekibumba, ne Nalubiri, ku bano 15 basangiddwa n’obulwadde bwa Nalubiri.
Dr. Kaggwa annyonnyodde nti bwebazuula obulwadde buno nga bukyali, abaana basobola okubeera mu bulamu obweyagaza era bagenda kutandika okuwa obujjanjabi eri abo abazuuliddwamu obulwadde buno kubanga obujjanjabi buno bwa lubeerera.

Asinzidde wano ne yeebaza Ssaabasajja Kabaka olw’omukisa gwawadde banna Buvuma era n’asaba enteekateeka eno ebeere ya lutentezi ate n’abasawo babeerewo okujjanjaba abantu ba Kabaka.
Dr. Kaggwa agamba olw’okuba omuwendo gw’abalwadde gubadde mungi, bonna tebasobodde kukolebwako era abafikkidde babakoledde enteekateeka ebatwala e Mulago bagende bafunireyo obujjanjabi.
Ssenkulu wa Kabaka Foundation, Omukungu Edward Kaggwa Ndagala, yebazizza abasawo abalongoosezza obulungi abalwadde ne watabaawo afuna buzibu, abaami b’Amasaza Bugerere ne Buvuma, abakoze enteekateeka y’okukunga n’okulaba nti olusiisira lutambula bulungi, n’alangirira nti enteekateeka eddako ya kubeera mu Ssaza Mawokota.
Omwami w’Essaza Buvuma, era nga yaggaddewo olusiisira luno, Owek Mbuubi Micheal Mboowa, yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okubasembereza obujjanjabi ku bwereere era abantu bajjanjjabiddwa nga kino kyeyolekera ku muwendo gw’abantu abalongooseddwa, n’asibirira abantu b’e Buvuma entanda y’okugenda okwekebeza, babeere bayonjo bakimanye nti amaka galina okubeera ne kaabuyonjo, effumbiro, akatandaalo kwe baanika amasowani, obutasula na bisolo, agamba bwe banaalemererwa okwettanira obuyonjo kijja kubaviirako endwadde.

Olusiisira luno lubade luyindira mu kibangirizi ky’e ddwaliro lya Buvuma health Centre 1V, era luwaniriddwa ekitongole ki Kabaka Foundation, obwakabaka bwa Buganda, Association of surgeons of Uganda, abasomero g’abasawo ag’enjawulo, I&M bank, Diamond trust bank, n’abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo.










