Bya Jjuuko Huzair Wasajja
Namirembe – Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza omusomo gwa Synod ogutegekebwa ekkanisa ya Uganda wansi w’obulabirizi bwe Namirembe ogwatambulidde ku mulamwa “Okuweereza Katonda nga tosuubira Kusasulwa nsimbi”. Synod lukungana olutegekebwa obulabirizi bwe Namirembe buli mwaka okukuba ttooci ku mirimu egikolebwa mu kkanisa.
Katikkiro mu kwogera kwe annyonyodde obukulu bw’obuwereza nga emu ku mpagi eri mu mulamwa gw’omusomo gw’omwaka guno.

“Obuweereza kwe kukola omulimo ogugasa abalala era we butali, tewali kugenda mu maaso. Obumativu bw’ofuna kikusaako omuwendo era kye kiraga ekyo ekiri ku meeme y’omuntu” Katikkiro.
Katikkiro akulisizza abakulembeze bano okutuusibwa ku daala ly’obuweereza eddala era nabeebaza okubukkiriza wadde nga ssi bwa nsimbi, naye bulina empeera nnenne.

Bano Katikkiro abajjukizza nti ekitiibwa kyabwe nga abakiise ku Synod eye Namirembe tekiri mu ntebe oba ebifo bye baalondebwamu wabula kijja kuva ku ngeri gye bakolamu emirimu egigendera ku bifo ebyo.
Omuwandiisi w’Obulabirizi Canon Henry Ssegawa ategeezezza nti ensisinkano eno n’abakulembeze leero egendereddwamu okubangula abakulembeze bagye ebirowoozo ku buwereza bwe nsimbi wabula okuwereza Katonda n’abantu be.

Ono alaze nti abantu abawangalira mu Buganda betaaga okwojiwazibwa obwongo ku ngeri y’okwekulakulanya bave ku ddaala erimu badde ku ddala.
Omukolo guno gwetabiddwako ba Minisita okubadde Minista w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone Owek Robert Serwanga Ssaalongo wamu ne Minisita w’Obuwangwa n’Ennono Owek Dr. Anthony Wamala, Ssaabaganzi Emmanuel Ssekitooleko,Omukungu Gerald Ddamulira Mukasa, Omukungu David Baalak, Omukungu Simon Kaboggoza, bannaddiini nabantu abalala.









