Bya Jjuuko Huzair Wasajja
Mmengo-Kyaddondo
Obwakabaka okuyita mu ministule y’abavubuka butongozza olukiiko lwa Nkobazambogo olugya olw’eggwanga lyonna lutandiike obuwereza naddala mu bavubuka nga luno lutongozedwa Katikkiro Charles Peter Mayiga mu bimuli bya Bulange e Mmengo.
Katikkiro Mayiga asabye bannankobazambogo bano okwenyigira obutereevu mu lugendo lw’okuzza Buganda ku ntikko nga bakola emirimu egivaamu ensimbi bayitimuke era bayitimuse n’ensi yabwe Buganda.

Kamalabyonna asiimye obuweereza bwa bannankobazambogo bano era nabakubiriza okwengera okuzimba obukugu mwebyo ebibatendekeddwa mu matendekero awamu n’okunoonya emirimo.
“Tubakubiriza okwongera okuzimba obukugu mwebyo bye musomye mu matendekero awamu n’okunoonya emirimu, abavubuka basoomoozebwa nnyo mu kunoonya emirimu era tewali kubuusabuusa nti abavubuka abatalina mirimu bakola ettunduttundu ddene nnyo mu bantu abatalina mirimu mu ggwanga” Katikkiro Mayiga.

Mukuuma ddamula asabye bannaNkobazambogo bano okukuuma obwasseruganda obuli mu kibiina kinno bwebazimbyemu era nabakubiriza okwongera okukolera awamu.
“Nkobazambogo ebazimbyemu obwasseruganda nga muli matendekero gye mutendekerwa kale tubeebaza nnyo omwoyo gw’okukolera awamu nga muyita mu buweereza buno bwemukola, okwerambula mu mabendobendo gye musomera, okuyambagana mu banaffe abetaaga okukwatirako. Bino byonna bikulu nnyo mu kuzimba omulembe ogwamaanyi nga buli muntu alina obuvunaanyizibwa ku mulala era tubasaba empisa eno mugitwale mu maaso. Nebwemuba mufulumye amatendekero musigale nga mutambulira awamu nga munoonya emirimu n’emikisa naddala abali mu bukugu bwebumu, mujja kwanguyirwa nnyo ensi” Katikkiro.

Katikkiro akubirizza abavubuka bano okugatta omutindo ku mirimo ejibayigiriziddwa mu matendekero gaabwe.
“Eky’omukisa omunene nti musomye, abamu emirimu egyo gyennyini gye musomye gyemukola, mulina okulwana okugigattako omutindo n’okugikulaakulanya bwekuba kulima mmwanyi, naawe tandikiraawo, bweriba ttaka nga weeriri likulaakulanye, bwekuba kulunda nkoko, lunda obukolero obutonotono n’obuweereza obwabuli ngeri yonna mu bukole musobole okutikkula abazadde omugugu era mufuuke ekitangaala mu mpya zammwe” Katikkiro Mayiga
Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone Oweek Robert Sserwanga Ssaalongo agambye nti boongedde amaanyi mu kubunyisa Nkobazambogo mu matendekero agenjawulo okwetoloola eggwanga lyonna era waliwo abakulembeze Abaganda abali mu bifo eby’enjawulo, abakola emirimu egy’enjawulo era abagenda mu maaso n’okuweereza bantu b’Omutanda.

Minisita Sserwanga akkatirizza nti abavubuka bwebaweebwa omukisa okubayigiriza n’okubakulakulanya basobola okutuuka mu bifo ebikulu era ne bakolera abantu baabwe kubanga obukulembeze bw’enkya butandika leero.
Omubaka wa Bukoto South mu palamenti Kizza Hakim Ssawula nga yaliko Ssentebe wa Nkobazambogo mu ggwanga asabye bannankobazambogo obutatiiririra Kabaka.
Abadde Ssentebe wa Nkobazambogo mu ggwanga Ssemuju Moses Mwanje agamba bakoze ebintu ebitumbula Obuwangwa, Obutonde bw’ensi nga bayita mu kusimba emiti n’okutumbula ebyenfuna bya bannankobazambogo nga bayita mu kutereka ensimbi bwatyo kwekusaba obukulembeze obuggya okutwala omukululo ogwo mu maaso.
Ssentebe wa Bavubuka mu Buganda munnamateeka Derick Kavuma asabye bannaNkobazambogo okusitula omutindo mu byebakola n’okubeera abeesimbu eri Buganda.
Ssentebe wa Nkobazambogo omugya ye Nalujja Rachel, amyukibwa Kizito Pius, Waswa Paul Muwonge muwandiisi, Omukubiriza w’olukiiko ye Nakamatte Sylvia, Ssemmanda Alaphat Kakooza munnamateeka wa lukiiko, Ssango James wa mawulire nabalala. Abayizi okuva mu matendekero agenjawulo okuli Makerere University, Kyambogo University, Muteesa I ROYAL University, Buganda Royal Institute n’amalala beyiyye mu bunji ku mukolo guno era bano bakiise n’oluwalo lwa bukadde obusobye mu busatu.










